TOP
  • Home
  • Amawulire
  • OKUTTA KIRUMIRA: Basonze olunwe ku ba Flying Squad 4

OKUTTA KIRUMIRA: Basonze olunwe ku ba Flying Squad 4

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd September 2018

AMAGYE geekenneenyezza obujulizi ku kutemula Kirumira ne bagattako ne bye bakung'aanyizza mu bantu abaasoose okukwatibwa ne basibira ku basajja bana abakolera mu Flying Squad abagambibwa nti, balina akakwate ku butemu buno.

Kirumiranew5 703x422

Omugenzi Kirumira Muhammad

Abaasoose okukwatibwa kuliko; Deus Bamwesigye owa Flying Squad akolera ku CPS era ng’ono baamukutte n’omuserikale omulala akolera ku poliisi ya Kampalamukadde ayitibwa Ismael Ssenono.

Wadde abo baakwatiddwa, kyokka kigambibwa nti abaatadde olukwe mu nkola balala era asinze okusongebwamu olunwe ye muserikale wa Flying Squad abadde yaakayimbulwa okuva mu kkomera e Luzira.

Ono mu kumutwala e Luzira kigambibwa nti Mohammed Kirumira yakola kinene kubanga yamuwaako obujulizi obulaga nti y’omu ku bali mu kibinja ekitta abantu mu Kampala nga kikozesa emmundu era bwe bumu ku bujulizi amagye bwe geesigamako okumukwata.

Obujulizi Kirumira bwe yawa ku musajja ono bwalaga nti alina ekibinja ky’akola nakyo era nti enkiiko z’okutta abantu n’okubanyagulula nti bazituuza mu nnyumba emu eri mu kikomera e Nansana – Gganda mu Wakiso.

Obujulizi era bwalaga nti yali akolagana n’akabinja k’ababbi aboomutawaana akaali kakolera munda mu kibiina kya Boda Boda 2010.

Kirumira yali takwatagana na Boda Boda 2010 era bwe baakwata akabinja ako wamu n’omuyima waako Abdallah Kitatta, Kirumira yalaga obumalirivu bwe yeewaayo okuwa obujulizi ku Kitatta n’akabinja kano ke yayogerako ng’akaali kakola ebikolobero ebisusse.

Omusajja ono gwe boogerako nti y’omu ku baakubye amasasi agambibwa okuba nga yali mukuumi w’omu ku boofiisa ba poliisi abaggalirwa amagye ku misango gy’okuwamba Abanyarwanda ne babazza e Rwanda mu ngeri emenya amateeka.

Lwe yaggulawo omusango ku poliisi e Lungujja mu February w’omwaka guno, yagamba nti waaliwo abaali bamulondoola era n’ategeeza nti omu ku baali bamulondoola yali akwatiddwa naye nga yeeraliikirira nti Kirumira yali agenda kumuwaako obujulizi kubanga yalina fayiro nnyingi ez’ettemu okuviira ddala mu RRU mwe yasooka okukolera nga tennafuulibwa Flying Squad.

Kirumira yategeeza Bukedde nti kw'olwo abaali bamulondoola yabatega akakodye n’akwata mmotoka ye n’agiwa abantu abalala abaagivuze olwo abamulondoola ne balowooza nti y’alimu ne bagigoberera.

Omusango yaguggulawo ku fayiro SD REF: 43/28/02/2018 ku poliisi e Lungujja mu Kampala, wabula tegwagobererwa bulungi era teri yakwatibwa kw’abo be yali alumiriza.

Siteetimenti gye yakola ku piliisi yategeeza nti abaali bamulondoola baali mu kibinja ky’abamu ku baserikale abaakwatibwa amagye n’abamu ku baali bakulira Boda Boda 2010 kubanga baali balowooza nti ayinza okuwaayo obujulizi obubaluma mu misango egibavunaanibwa.

Kirumira yali akyogera lwatu nti yali mwetegefu ddala bulungi okulumiriza Kitatta n’aba Boda Boda 2010 era amawulire gano Bukedde yagafulumyako nga January 31, 2018.

Ab’amagye mu CMI abanoonyereza ku basse Kirumira baagala okuzuula akakwate akaliwo ku bujulizi Kirumira bw’abadde alina ku musajja ono ayogerwako era nga kiteeberezebwa nti ye yakoze ‘misoni’ emutta ng’ayayambiddwaako aba Flying Squad abalala babiri abakyanoonyerezebwako.

Waliwo abantu abalala abaakwatiddwa ku by’okutemula Kirumira era nga kuno kuliko ne Ahmed Kamad Ssebuufu Omutabbuliki ku Muzikiti gw’e Nakasero era ono baamuggye mu makaage e Mutundwe; wabula abooluganda lwe baalaajanye nti ono bamulanga bwemage.

Waliwo n’abasajja abalala babiri abaakwatiddwa e Bulenga era omu baamusanze ne piisito mu mmotoka ate omulala yali mu maka ga Kirumira naye bwe baatandika okumukaza ayogere ebimukwatako, n’agezaako okudduka ne bamugoba ne bamukwata.

Abamu ku baakwatiddwa baabasibidde Mbuya ku kitebe kya CMI kyokka bakyayigga abalala naddala omusajja ayogerwako abadde yaakava e Luzira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab2 220x290

Leero mu mumboozi y'omukenkufu...

Leero mu mumboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu butto w'empirinvuma okulwanyisa obulumi ng'oli...

Kuba1 220x290

Abalamuzi mu nsi za Afrika 5 basisinkanye...

HENRY Peter Adonyo akulira ettendekero ly’abalamuzi akubirizza abalamuzi ba Kkooti Enkulu okwenyigiranga mu misomo...

Haki 220x290

Kamoga atongozza hakki eyookuna...

HAJJI Muhammadi Kamoga naye nno tasaaga. Ayingizzaawo hakki eyookuna Zanei Birungi.

Tuula 220x290

Spider Roxy atandise okukokoolima?...

ABANTU abaalabye omuyimbi Spider Roxy n’ekyana nga beekuba obuwuna n’obwama baasigadde beebuuza oba naye yatandise...

Tuma 220x290

Omuwala yankyawa lwa bwavu

NZE Wilson Musoga, nzaalibwa mu disitulikiti y’e Mayuge. Mu 2018, nnasalawo okufuna omwagalwa era amaaso gansuula...