TOP

Abapoliisi abalabikidde mu katambi nga batulugunya owa 'people power' babakutte

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd September 2018

Poliisi ekutte basajja baayo bana abalabikidde mu katambi nga batulugunya omuvubuka wa 'people power' e Kajjansi ku poliisi

Ony 703x422

Onyango amyuka omwogezi wa poliisi

ABASIRIKALE ba poliisi bana abagambibwa okwenyigira mu kutulugunya omuvubuka wa ‘people power’ eyasangiddwa ng'ayambadde t-shirt emyufu okuli ekifaananyi kya Bobi Wine bakwatiddwa.

Abakwatte kuliko; Samuel Wangubo, Denis Oguma, James kayenga  Denis Namugongo abakolera ku poliisi y’e Kanjansi ku luguudo lw’e Ntebe.

Bano kigambibwa nti be balabikidde mu katambi akasaasaanye ku mikutu gya yintanenti akalaga abasiririkale ba poliisi nga bakung’anidde ku muvubuka  ayambuddwamu t-shirt ali ku mpingu bamukuba ebikonde, ensambageere n’emiggo ku poliisi.

Patrick Onyango amyuka omwogezi wa poliisi mu ggwanga avumiridde ekikolwa ky’abasirikale bano agamba okubanoonyerezako kutandise. agasseko  nti bino si bikolwa bya kitongole kya poliisi wabula bantu ssekinomu era bagenda kubonerezebwa.

Ye omuvubuka alabikira mu katambi kano nga bamukuba bwalajjana ategerekese nga Kasiimu Migadde omuvuzi wa boda e kajjansi nga mutuuze w’e Nakigalala.

Banne bakola nabbo bategezezza nga Kasiimu bw’ali mu bulumi kubanga ab’amagye be basoose okumukuba nga bamukwata nga tanatwalibwa kutwalibwa ku poliisi abasirikale gye bayongedde okumutulugunya.

Bino byabaddewo ku Lwokuna omubaka Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) bwe yabadde akomawo mu ggwanga.

Ebikolwa by’okutulugunya abawagizi be, Bobi Wine agambye abitwala mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN) era agenda kweyambisa obutambi buno ng’obumu ku bujulizi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gab1 220x290

Omwana agambibwa okubuzibwawo ku...

Omwana agambibwa okubuzibwawo ku lwomukaaga atadde bazadde be ku bunkenke

Man2 220x290

Ebireetera omusajja okusuulawo...

Ebireetera omusajja okusuulawo omukazi gw’afunyisizza olubuto

Deb1 220x290

Ebivaako ‘kaseti’ okugaaya‘tteepu’...

Ebivaako ‘kaseti’ okugaaya‘tteepu’ n’egiremeramu

Web2 220x290

Enkuba egoyezza ekkanisa e Lwengo...

Enkuba egoyezza ekkanisa e Lwengo

Reb1 220x290

Aba Bbanka enkulu bannyonnyodde...

Aba Bbanka enkulu bannyonnyodde lwaki ebimu ku biwandiiko bya Bbanka ezaatundibwa tebabirina