TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Ab'e Kanyanya beewozezzaako ku ssente za Pulezidenti

Ab'e Kanyanya beewozezzaako ku ssente za Pulezidenti

By Moses Lemisa

Added 23rd September 2018

ABABAZZI abakolera ku Bbiri basambazze ebyogerwa nti baabulankanya ssente n’ebyuma Pulezidenti bye yabawa.

Gendako1 703x422

Abavubuka nga bakola entebe.

Baalaze ebimu ku byuma bino ne bategeeza nti ababavuganya ne bagenda balimba abantu.

Abasuubuzi abasoba 2,000 abeegattira mu kibiina kya ‘Ku Bbiri Furniture Maker’s Development Initiative’ omuli ababazzi b’entebe, ebitanda, abatunga, abafumbi b’emmere, abatunda ebyokunywa mu kaweefube w’okulwanyisa obwavu Pulezidenti Museveni mu October wa 2017 yabawa ssente 100,000,000/- n’ebyuma ebikozesebwa mu bajjiro, ebyalaani n’emmotoka ekika kya Canter nnamba UBA 036U bagikozese mu mirimu gyabwe.

Wabula wiiki ewedde ku Lwokutaano Pulezidenti bwe yabadde e Kawempe ng’agabira abavubuka ssente omusajja yasituse n’ategeeza Pulezidenti nti, ebyuma ebyaweebwa ababazzi Ku Bbiri baabitunda dda ekyanyizizza ababazzi.

Godfrey Kizito 52, ssentebe w’abasuubuzi ku Bbiri yategeezezza nti, bwe baafuna ssente abasuubuzi bazze bazeewola ne bongera mu bizinensi zaabwe awatali kusosola wadde mu byobufuzi.

Yagambye nti nga baakaweebwa ssente abasuubuzi abaalina ebigendererwa byabwe baatandika okugamba nti ebyuma babitunze ekitali kituufu.

“Pulezidenti nga bamaze okumugamba nti twatunda ebyuma n’emmotoka yasindise ababaka ne babiraba kati tetumanyi lwaki bagenda batwogerera bubi”, Kizito bwe yategeezezza.

Yayongeddeko nti waliwo abavubuka abaalagirwa okwekolamu obubinja bw’abantu bataano buli omu ne bamuwola ssente 500,000/- ng’azizzaayo oluvannyuma lw’emyezi mukaaga n’amagoba ga ssente 100,000/-.

Abalina bizinensi ennene babawola nga bawaddeyo omusingo era abasoba 300 bafunye ku ssente zino ne bazizzaayo.

Yayongeddeko nti, ku ssente zino baakozesaako 28,000,000/- ne bazimba olutindo ku mwala we bayisa ebikozesebwa.

Moses Kigozi ssentebe wa Min Triangle omuli ababazzi abamu yategeezezza nti, abagamba nti ababazzi ebyuma baabitunda kirabika waliwo ababiteekamu ebyobufuzi n’agattako nti abavubuka bangi mu kiseera kino balina emirimu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191213at212901copy 220x290

Balaze waaka ku mpaka z'emisono...

Balaze waaka ku mukolo gw'okwolesa emisono ogwategekeddwa Abraynz ku Serena Hotel mu Kampala

Steelandtubebyjmutebi2 220x290

'Abakozi mukomye okwemulugunya'...

FAAZA Raymond Kalanzi ow’e kiggo ky’e Kiwamirembe alabudde abakozi abasiiba ku mirimu yonna gye bali nga beemulugunya...

Fanda1 220x290

Eyasuulawo mukyala we emyaka 25...

SSEMAKA eyasuulawo mukyala we ng’afunye omulala akomyewo oluvannyuma lw’emyaka 25 n’amukuba empeta.

Bba 220x290

Kkamera ziraze eyabbye emmotoka...

KKAMERA za poliisi zikutte omusajja omulala ng’abba emmotoka eyabadde esimbiddwa okumpi n’eddwaaliro ly’e Mulago....

Tamalemirundi 220x290

Tamale Mirundi agobye abamulambula...

Mikwano gya Tamale Mirundi betwayogeddeko nabo baategeezezza nti obulwadde Tamale bwamwetamizza abantu era mu bamu...