TOP

Bannakyaggwe mweyongere okuzaala - Ssekiboobo

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd September 2018

SSEKIBOOBO Alex Benjamin Kigongo alagidde Bannakyaggwe okuzaala, n'okubugiriza Kabaka ng'alambula bulungi bwa nsi mu Kyaggwe.

Davidkyagambiddwamatovungayogerakumukolo 703x422

David Kyagambiddwa ng'asoma obubaka bwa Ssekiboobo

Bya Drake Ssentongo 

SSEKIBOOBO Alex Benjamin Kigongo alagidde Bannakyaggwe okuzaala, n'okubugiriza Kabaka ng'alambula bulungi bwa nsi mu Kyaggwe.

Bino byabadde mu bubaka bwe yatisse kamisona w'ebyenjigiriza mu Kyaggwe, David Kyagambiddwa Matovu ku matikkira ag'omulundi ogw'okubiri mu Kasawo College of Business and Technical Education e Namaliri mu Nakifuma ku Lwokutaano. 

Abayizi 80 beebatikkiddwa mu masomo g'okukanika kompyuta n'emmotoka, eby'amasannyalaze, okusiba enviira n'amalala. 

"Muzaale abaana naye mubakola nga bano abatikkiddwa," bwatyo Kyagambiddwa bwe yategeezezza.  Era wano we yategeerezza Bannakyaggwe nga Kabaka bwe yasiimye okulabikako eri Obuganda ng'alambula bulungi bwansi mu Kyaggwe omwezi ogujja. 

Entikko y'emikolo egenda kubeera ku ggombolola e Ntenjeru nga October 8.

 bamu ku bayizi abaatikkiddwa Abamu ku bayizi abaatikkiddwa

 

Omugenyi omukulu, Fred Ssimbwa yennyamidde olw'abayizi abatono mu ssomero lino eriri ku ttaka n'ebizimbe by'Obwakabaka.

Ssimbwa yakubirizza abagole okukwatanga obudde mu buli kye bakola ate omukulu w'essomero, David Mwesigwa n'abasaba okweyongera okusoma n'obutatya kukola nsobi kubanga mwe muva engolokofu.

Ku ssomero lino w'osanga n'ekitebe ky'eggombolola ly'e Kasawo erikulemberwa Moses Tamale. 

Kyaggwe alimu amagomboloa 14 nga buli limu lisuubirwa okuweereza abayizi abatakka wansi wa kkumi mu ttendekero lino buli mwaka okusinziira ku Matovu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mema 220x290

Eyanoonyeza mu Bukedde ayanjudde...

ENDUULU ez’olulekereeke zaakubiddwa abeetabye ku mukolo nga Hadijah Namakula omutunzi w’engoye ayanjula bba Musa...

Lina 220x290

Balamu bange bannemesa eddya

NZE Grace Kentuwa 28, mbeera mu Zooni 7 e Makerere Kikoni mu muluka gwa Kawempe. Twasisinkana ne baze mu 2014 e...

Sadblackcouple 220x290

Omwami wange alina buzibu ki?

OMWAMI wange ansobedde. Nga tugenda okwebaka tayagala kwegatta naye mu kiro ssaawa nga 9:00 mu matumbibudde ankwata...

Rupiny1 220x290

Africell eyiye kavu wa bukadde...

KAMPUNI y’amasimu eya Africell etadde kavu wa bukadde 15 mu mpaka z’omupiira ez’okukuza amazaalibwa ga Yesu ezitegekeddwa...

Title 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUTAANO YATUUSE DDA...

Militale etandise ebikwekweto bya Ssekukkulu era eyodde 200 abatigomya Kampala n’emiriraano.