Kwakukolebwa mu Kampala , Mukono n’e Wakiso nga kino kiddiridde Pulezidenti Museveni okutegeeza ng’eggye lino bwe ligenda okuddawo mu kaweefube w’okulwanyisa obumenyi bw’amateeka naddala ettemu erikudde ejjembe ennaku zino. Yabituukako oluvannyuma lw’okutemulwa kwa Afande Momammed Kirumira.
Okusinziira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa eggye lya UPDF , okuwandiika aba LDU kugenda kubeera ku miruka mu Kampala, Wakiso n’e Mukono era kwakukomekerezebwa October 1,2018.
Abawandiika bagenda kuva mu ggye lya UPDF, poliisi n’ekitongole ekivunaanyizibwa ku kuketta munda mu ggwanga ekya ISO era bajja kuyambibwako abakulembeze ba gavumenti z’ebitundu.
Ebisaanizo by’abaagala okuyingira LDU kuliko ; Okuba Bannayuganda nga balina n’endagamuntu ezikakasa obutuuze bwabwe wano, bateekeddwa okuba nga balamu bulungi era bajja kuddusibwa emisinde okukakasa oba balamu bulungi era bakeberwe okuzuula nti tebalina kalwadde konna.
Balina okuba nga bawali wakati w’emyaka 18 ne 35. Era nga balina okuba n’obuyigirize obuli wakati wa P.7 ne S.4 nga tebalina mulimu gwa nkalakalirira mulala gwonna. Ajja kusabwa ebbaluwa emusemba okuva ewa ssentebe wa LC1 , ow’ebyokwerinda,,akulira eby’obukessi ku muluka PISO n’ow’okuggombolola DISO era bonna balina okuba nga bataddeko emikono.
Abawandiisibwa balina okuba abatuuze b’omu bitundu gye bawandisibwa era nga tebazzanga ku musango gwonna,nga balina empisa. Analeeta ebiwandiiko ebijingirire ajja kuvunaanibwa.
Eggye lya LDU lyaliwo emyaka egiyise ne ligyibwawo olw’okwemulugunya okwali kuyitiridde nga abamu baali basiiwuse empisa ne batandika okukola ebikolobero ku bantu.
Aba FDC be bamu ku bakavaayo okuwakanya okuzzaawo LDU nga bagamba nti gavumenti egenda kuba eyongedde emmundu mu bantu ng’ezikwasizza abantu abatali batendeke bulungi. Era egamba nti ebitongole ebikessi bye byandibadde byongerwamu amaanyi okuzuula abamenya amateeka.