TOP
  • Home
  • Diaspora
  • Bannayuganda abasuubulira e Juba beekubidde enduulu ku kya Gav't yaayo okubatwalako akatale

Bannayuganda abasuubulira e Juba beekubidde enduulu ku kya Gav't yaayo okubatwalako akatale

By Muwanga Kakooza

Added 23rd September 2018

SIPIIKA Rebecca Kadaga agambye nti akitegeddeko nti gavumenti ya South Sudan eyagala kweddiza katale akaazimbibwa Bannayuganda era bakoleramu emirimu mu kibuga Juba n’asaba ab’obuyinza mu ggwanga eryo okuyingira mu nsonga ezo.

Kadas 703x422

Sipiika ng’asisinkanye abasuubuzi Bannayuganda e Juba

Yasabye sipiika wa palamenti y’e South Sudan Athony Lino Makana okuyingira mu nsonga zino okulaba nga Bannayuganda abasuubulira e Juba basigaza akatale kano akaweza yiika nga 17.

Bino byaddiridde Kadaga okusisinkana abasuubuzi Bannayuganda abakolera e Juba abeegattira mu kibiina kya  ‘’Famms Kwagalana traders Association South Sudan’’ era nga bano be bakolera mu katale akasinga obunene mu kibuga Juba.

Kadaga ali Juba okwetaba mu lukung’ana lwa basipiika ba Palamenti z’amawanga g’Obuvanjuba bwa Afrika era yayaniriziddwa mukulu munne Makana ku kisaawe e Juba,okusinziira ku mawulire agaafulumiziddwa palamenti ya Uganda.

Bannayuganda abakolera e South Sudan emirimu egitali naddala egy’obusuubuzi nga batwalayo n’okutundirayo ebyamaguzi.

Bukyanga South Sudan yeefuga, Bannayuganda babadde bagenda nnyo mu ggwanga eryo kyokka batera okwemulugunya nti olumu bayisibwa bubi.

Oluvannyuma lw’obutakkaanya obubaddewo mu by’obufuzi mu ggwanga eryo wakati wa Pulezidenti Salva Kiir n’eyali omumyuka we,  Riak Machar  okumalibwawo Bannayuganda basuubirwa okweyongera  okweyiwa e South Sudan okukolerayo emirimu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nsa 220x290

Nnejjusa ekyanziggya mu kusoma...

Omuyimbi Busy Criminal yejjusa ekyamuggya mu kusoma ntandike okuyimba, agamba nfubye okukuba emiziki naye tebinnaba...

Omugagga abadde avunaanibwa okwekomya...

Omugagga abadde avunaanibwa okwekomya ebintu bya mukyala we ayimbuddwa

Kwata 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA YATUUSE DDA...

Tukulaze omusajja gwe baakutte mu bukambwe ne bamukubisa ebigala by’emmundu mu Kampala. Aba famire ye bagguddewo...

Hib2 220x290

EBIKWATA KU KICONCO

EBIKWATA KU KICONCO

Co2 220x290

Akakiiko kakunyizza Kiconco ku...

Akakiiko kakunyizza Kiconco ku ttaka ly’e Lusanja