TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bobi Wine eby’okutulugunya abantu abitutte mu UN

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu abitutte mu UN

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd September 2018

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya obutambi obulaga ebyabatuusibwako.

42312484102150760182472974931861717081653248n 703x422

Munnamawulire ng'ayamba eyalumiziddwa

Bobi Wine agamba nti ayagala bwenkanya kyokka, nab’ekitongole kya UN bakome ku gavumenti okukomya okuyisa obubi abawagizi b’ekisinde kya People’s Power.

Yagambye nti si kituufu gavumentgi okulumiriza nti abantu beekwata babeera bakozi ba ffujjo n’agamba nti abamu ku bantu abakubwa nga Bannamawulire babeera ku mirimu gyabwe .

Ku Lunaku Bobi Wine lweyadda mu Uganda, abantu bangi abaakubwa emiggo, okuli bannamawulire n’abantu abalala era nga waliwo n’akatambi akaakwatibwa nga kalaga abasirikale ku poliisi e Kajjansi nga bakuba omuntu, era bino byonna ab’enkambi ya Bobi Wine baabiweerezza aba UN.

ABAAKUBIDDWA BATTOTTOLA EBYABADDEWO

 

Xviera Ssewankambo 28, Amanyiddwa Sweet Pepsi eyalabikidde mu katambi ku mikutu gya yintaneeti ng’abamagye bamukuba emiggo atiriika musaayi agamba yawoonedde watano okufa olw’emiggo n’ebigala by’emmundu ebyamukubiddwa okutuuka okumwasa omutwe.

Ssewankambo omutuuze w’e Kulambiro Central zooni, gwe basoose okuddusa mu kalwaliro akamu e Kasangati ng’ali mu mbeera mbi agamba basoose ku mukuba bigala bya mmundu ku mutwe nga tebannaba mukuba miggo egirabikira mu katambi akasaasaanidde ku mikutu gya yintaneti “Nabadde nkyali wansi ne zireeta ekibinja ky’abajaasi abalala (abalabikira mu katambi) era bano mu kifo ky’okuyamba bayongedde kunkuba mbooko mu mugongo era wano namazze eddaakika eziweerako nga sikyategeera kigenda mu maaso’Ssewankambo bwe yategeezezza.

Ate James Kibuuka bulooka w’ettaka, omutuuze we Nangabo mu ajjudde ebisago mu mugongo emisale n’enkovu mu mugongo olwa kibooko ze bamukubye, Agamba nti yabadde ku pikipiki ng’agenda ku somero lya Kindmother Nursery School Wampeewo okuggyayo omwana we yabadde atuuka awali oluguudo ololwa kibooko zebaamukubye nga bagumbulula abawagoizi ba Bobi Wine e Kasangati ku Lwokuna.

Kibuuka agamba nti gy’ogyeko okuba nti talina ssente za bujjanjabi, akyatidde okugenda ku poliisi okugiroopera ekyamutuuseko kubanga atya nti bayinza ate okumwefuulira ne bamukwata nga bagamba yabadde mu kwekalakaasa.

Abantu babadde bakyaali ku by’amagye okukuba abantu e Kasangati ate newabaawo abasirikale ba poliisi abalabikidde mu katambi ku mikutu gya yintaneeti mu bukambwe nga batulugunya omuvubuka wa people power e Kajjansi .

Akatambi kalaga abasirikale ba poliisi nga bakung’anidde ku muvubuka ayambuddwamu T-shirt ali ku mpingu bamukuba ebikonde, ensambageere n’emiggo.

alt=''

 

POLIISI ENNYONYEREZA KU BILI MU KATAMBI

Oluvannyuma lw’akatambi kano okusaasaanira ku mikutu gya yintanenti, poliisi eggulo ng’eyita ku mukutu gwayo ogwa Face book yataddeko obubaka obuvumirira ekikolwa kino ne bagattako nti batandise okunoonyereza ku basirikale abalabikira mu katambi kano.

Bayongeddeko nti ebikolwa bino eby’okutulugunya abantu tebiri mu mateeka era si bya poliisi bikolebwa abantu ssekinnoomu era abo abanazuulwa nga benyigidde mu kutulugunya omuvubuka ono bajja kuvunaanibwa ssekinnoomu.

BOBI WINE AVUMIRIDDE EBY’OKUTULUGUNYA ABAWAGIZI BE

Oluvannyuma lw’okulaba obutambi buno, Bobi Wine naye yavuddeyo navumirira ebikolwa bino bye yayise nti bigendereddwamu kutiisatiisa abantu be n’okubaggya ku mulamwa.

Bobi Wine yagasseko nti alagidde ttiimu ya bannamateeka be okuvaayo ku bikolwa by’okutulugunya abantu be era agamba bino byonna ebirabikira mu butambi bwebujulizi bwebajja okukozesa mu kibiina kya UN.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Namatambaga1 220x290

Muwala wa Katikkiro Mayiga agattiddwa...

Muwala wa Katikkiro Mayiga agattiddwa ne kabiite we mu kitiibwa

Kiru10 220x290

Abavubuka mwagale nnyo ensi yammwe...

Abavubuka mwagale nnyo ensi yammwe nga Kirumira bwe yakola - Bobi Wine

Twa 220x290

Museveni agguddewo olutalo oluggya...

PULEZIDENTI Museveni atongozza kaweefube ow’enjawulo agenderera okumalirawo ddala Siriimu omwaka 2030 we gunaatuukira....

Many 220x290

Eyazadde abaana 5 omulundi gumu...

Honoranta Nakato, 44, abaana yabazaalira mu ddwaliro lya Women’s Hospital ,International and Fertility Centre e...

Dpn6kdew0aa2dy 220x290

Putin asuubizza okuyamba Uganda...

PULEZIDENTI wa Russia, Vladimir Putin, akubagizza Uganda olw’okufiirwa abantu abasoba mu 46 abaabuutikiddwa ettaka...