TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z'okuyisa bajeti ya 2018/2019

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z'okuyisa bajeti ya 2018/2019

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd September 2018

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira y’omwaka gw’ebyensimbi 2018/2019 singa gavumenti teyongera ku nsimbi z’ewa minisitule y’ebyobulimi.

Budgetkasaijaweb 703x422

Matia Kasaija, Minisita w'ebyensimbi ng'alaga embalirira y'eggwanga

Ababaka bino baabisaliddewo mu nsisinkano gye babaddemu n’abakozi okuva mu bitongole eby’enjawulo ebiri wansi wa minisitule evunaanyizibwa ku byobulimi, obuvubi n’obulunzi.

Mu kiseera kino gavumenti ewa minisitule y’ebyobulimi, obuvubi n’obulunzi ensimbi ebitundu 2.9 ku 100 nga kati ababaka baagala ensimbi zino zirinnyisibwe okutuuka ku bitundu 5 ku 100 mu mbalirira y’omwaka gw’ebyensimbi ogujja.

Ekiteeso kino kyayanjuddwa omubaka w’essaza lye Buvuma mu palamenti Robert Migadde Ndugwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gab1 220x290

Omwana agambibwa okubuzibwawo ku...

Omwana agambibwa okubuzibwawo ku lwomukaaga atadde bazadde be ku bunkenke

Man2 220x290

Ebireetera omusajja okusuulawo...

Ebireetera omusajja okusuulawo omukazi gw’afunyisizza olubuto

Deb1 220x290

Ebivaako ‘kaseti’ okugaaya‘tteepu’...

Ebivaako ‘kaseti’ okugaaya‘tteepu’ n’egiremeramu

Web2 220x290

Enkuba egoyezza ekkanisa e Lwengo...

Enkuba egoyezza ekkanisa e Lwengo

Reb1 220x290

Aba Bbanka enkulu bannyonnyodde...

Aba Bbanka enkulu bannyonnyodde lwaki ebimu ku biwandiiko bya Bbanka ezaatundibwa tebabirina