TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri ekyasse abantu baggalirwe

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri ekyasse abantu baggalirwe

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd September 2018

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John Pombe Magufuli atabuse n’alagira abakungu bonna ababadde baddukanya ekidyeri kino okukwatibwa baggalirwe.

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 703x422

Abadduukirize nga bannyulula emirambo mu mazzi

Emirambo 136 gye gyasoose okunnyululwa era ku makya g’Olwomukaaga, balubbira ne badda mu nnyanja okunoonya emirambo emirala era nga waliwo okutya nti abantu bonna 200 abatalabikako bandiba nga baafiiridde mu nnyanja.

Ekidyeri kino ekiyitibwa MV Nyerere kyabbidde nga kinaatera okutuuka ku kizinga ky’e Ukara ku ludda lwa L. Victoria (Nnalubaale) olw’e Tanzania mu ssaza ly’e Mwanza.

Kyabadde kiva Bugorora mu Tanzania era nga kitisse abantu abasukka mu 400 kw’ossa ebyamaguzi.

Emirambo 218 gye gyakannyululwa mu nnyanja ne giteekebwa ku lukalu.

Abooluganda lw’abantu abaafudde obwedda balindidde ku lukalu wakati mu maziga era ng’omulambo oguggyibwayo gusooka kwetegerezebwa abooluganda, oluvannyuma ne bagusabika ebiveera.

Okutikka akabindo kigambibwa okuba nga kye kyavuddeko akabenje era awo Magufuli w’asinzidde okulagira abakivunaanyizibwako bonna okuli n’abaabadde basigadde mu ofiisi, bakwatibwe baggalirwe era bavunaanibwe okulagajjalira emirimu ekyavuddeko abantu abangi bwe batyo okufa.

Ekidyeri kino kiteekeddwa okutikka abantu abatasukka 100, wabula we kyafunidde akabenje kyabadde kitisse abasoba mu 400 ate nga kuliko n’ebyamaguzi bingi.

Nti abantu bangi baabadde bayaayaana okugendera ku kidyeri kubanga lwabadde lunaku lwa katale ka mubuulo e Bugorora ku kizinga ky’e Ukerewe era abaabadde bava mu katale beeyiye ku kidyeri, obuzito ne buyitirira.

Abasinga baabadde n’emigugu gy’ebyamaguzi byabwe era baatudde nagyo, ne gujabagira.

Omuduumizi wa poliisi e Tanzania Simon Sirro Mwanza yagambye nti bakyalina obweraliikirivu ku kweyongera kw’omuwendo gw’abaafiiridde mu kabenje kano kubanga n’abantu 40 kw’abo be baasobodde okuggya mu nnyanja nga bakyali balamu, embeera yaabwe nayo yabadde yeeraliikiriza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Namatambaga1 220x290

Muwala wa Katikkiro Mayiga agattiddwa...

Muwala wa Katikkiro Mayiga agattiddwa ne kabiite we mu kitiibwa

Kiru10 220x290

Abavubuka mwagale nnyo ensi yammwe...

Abavubuka mwagale nnyo ensi yammwe nga Kirumira bwe yakola - Bobi Wine

Twa 220x290

Museveni agguddewo olutalo oluggya...

PULEZIDENTI Museveni atongozza kaweefube ow’enjawulo agenderera okumalirawo ddala Siriimu omwaka 2030 we gunaatuukira....

Many 220x290

Eyazadde abaana 5 omulundi gumu...

Honoranta Nakato, 44, abaana yabazaalira mu ddwaliro lya Women’s Hospital ,International and Fertility Centre e...

Dpn6kdew0aa2dy 220x290

Putin asuubizza okuyamba Uganda...

PULEZIDENTI wa Russia, Vladimir Putin, akubagizza Uganda olw’okufiirwa abantu abasoba mu 46 abaabuutikiddwa ettaka...