TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omu afudde mu kabenje ka loole 2 ku lw’e Masaka

Omu afudde mu kabenje ka loole 2 ku lw’e Masaka

By Paddy Bukenya

Added 24th September 2018

LOOLE ya seminti eyingiridde ey’omusenyu ku lw’e Masaka okukakkana ddereeva omu n’afiiriwo ate abalala 5 ne baddusibwa mu ddwaaliro nga bataawa.

Kabenje3 703x422

Loole eyabaddeko seminti.

Bya PADDY BUKENYA
LOOLE ya seminti eyingiridde ey’omusenyu ku lw’e Masaka okukakkana ddereeva omu n’afiiriwo ate abalala 5 ne baddusibwa mu ddwaaliro nga bataawa.
 
Akabenje kano kaagudde Kalagala ku luguudo lw’e Masaka e Mpigi essaawa 4:00 ez’ekiro ekyakeesezza Ssande. Omugoba wa loole nnamba UAS 432S ebadde etisse seminti ng’eva Kampala edda Mbarara ye yayingiridde loole y’omusenyu nnamba UBB 170E ebadde eva mu Lwera ng’edda e Kampala ne zitomeregana bwenyi ku bwenyi.
 
Wasswa Lumala ddereeva wa loole ya seminti ye yafiiriddewo. Lumala omutuuze w’e Mukungwe Masaka omulambo gwe gwe okuguggya mu mmotoka batemye nteme.
 no naye yasimattuse wano ngajjanjabwa Ono naye yasimattuse wano ng’ajjanjabwa.

 

 
Banne be yabadde nabo okuli Hassan Kakumba yamenyese emikono, Abdu Ssebugwawo ow’e Masaka n’amenyeka mu kifuba, Faisal Matovu ow’e Namungoona n’afuna obuvune obwamaanyi mu kifuba n’omugongo.
Ye ddereeva wa loole y’omusenyu teyategeerekese mannya olw’embeera embi gye yabaddemu. Baddusiddwa mu ddwaaliro lya Double Cure e Kalagala.
 
Okusinziira ku baabaddewo akabenje kigambibwa kaavudde ku loole ya seminti ebadde ku misinde egya yiriyiri ku kaserengeto k’e Kalagala okwabika omupiira n’erumba ey’omusenyu ku mukono gwayo ne zitomeregana.
 
Poliisi y’ebidduka e Mpigi yatuuse mangu mu kifo awagudde akabenje kyokka abadduukirize ababadde abangi baabazizza abaserikale nga btemamu ababadde bawagamidde mu mmotoka ya seminti ne bakkakkana ku seminti eyabadde ajjudde ku loole eno ne bamunyaga kumpi kumumalawo.
 
 atovu yamenyese ekifuba Matovu yamenyese ekifuba

 

Akabenje kano okugwaawo wabadde waakayitawo ennaku ntono nga mmotoka ya seminti endala yaakatomera emmotoka endala bbiri mu kitoogo kya Kibukuta era abantu bataano okuli ne ddereeva waayo ne bafiirawo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

A Pass yeegobye mu luyimba lwa...

A Pass atabukidde Bebe Cool ku luyimba lwa ‘Corona Distance’, amulanga kumugattika na Fresh Daddy gw'ayita kazannyirizi...

Kagame 220x290

E Rwanda bongezzaayo kalantiini...

Gavumenti ya Rwanda yalangiridde nti eyongezzaayo ennaku abantu ze balina okumala nga tebava waka okutuuka April...

W1240p169s3reutersmedianet68 220x290

Coronavirus: World Bank ewadde...

Bbanka y’ensi yonna yawadde Kenya obuyambi bwa doola za Amerika obukadde 50 okuyambako mu kutangira okulwanyisa...

Kyuka 220x290

Abantu 1,000 bafudde Corona mu...

ABANTU 1,047 olufudde mu Amerika ebintu ne bikyuka. Trump obuyinza bw’okuteekawo kalantiini n’okusibira abantu...

Whatsappimage20200402at65210pm 220x290

Bajjo ayagala Full-Figure amuliyirire...

Bajjo ayagala Full-Figure amuliyirire obukadde 500 lwa kumwonoonera linnya.