TOP

Ensibuko y'erinnya Uganda

By Dickson Kulumba

Added 24th September 2018

ERINNYA Uganda lyava mu kigambo Buganda oluvannyuma lw’Abaswayiri abaawerekera Abazungu okujja kuno nga tebasobola kwatula nnukuta ‘b’ oba (B)Uganda wabula nga boogera Uganda bwe kityo kyonna ne kiyitibwa Uganda.

Kimala 703x422

Dr. imala ng'annyonnyola.

Bya DICKSON KULUMBA
 
ERINNYA Uganda lyava mu kigambo Buganda oluvannyuma lw’Abaswayiri abaawerekera Abazungu okujja kuno nga tebasobola kwatula nnukuta ‘b’ oba (B)Uganda wabula nga boogera Uganda bwe kityo kyonna ne kiyitibwa Uganda.
 
Gavumenti enkuumi yajja kuno mu August 1894 era wadde ensi eyo gye bajjamu okufuga baagituuma Uganda kyokka baali boogera ku Bwakabaka bwa Buganda okutuusa emyaka wakati wa 1900-1919, obufuzi bwabwe nga bugaziyiziddwa, Uganda eriwo kati n'ezaalibwa.
 
Phares Mukasa Mutibwa nga muwandiisi wa bitabo, mu kitabo kye ‘A History Of Uganda. The first 100 years 1894-1995’ agamba nti erinnya ly’ensi Uganda lyaggyibwa mu linnya Buganda oluvannyuma lw’Abazungu okutandika enkolagana yaabwe n’Obwakabaka bwa Buganda awo ne balyoka batuuka ne mu bitundu ebirala.
 
“Erinnya Uganda, eritaaliwo lyava mu kutaputa obubi erinnya Buganda kubanga abataputa Abaswayiri okuva ku lubalama lw’eriyanja lya Indian Ocean nga be baawerekera abagenyi okujja e Buganda (abasooka baali Bawalabu), baali tebasobola kwatula kigambo Buganda.
 
Bagiyita Uganda era n’ensi n'eyitibwa Uganda n’okutuusa leero, Polof. Mutibwa bwe yawandiika.
 
Ebigambo by’eyaliko Katikkiro wa Bungereza byongera okukakasa engeri Abazungu bano gye baali bataputamu erinnya Buganda. Bwe yakyalako wano mu 1907 yaddayo ewaabwe n'awandiika ekitabo 'My African Journey' nti "The Kingdom of Uganda is a fairy tale. The scenery is different, the climate is different and most of all, the people are different from anything elsewhere to be seen in the whole range of Africa....what message I bring back….concentrate on Uganda.
 
'Ekivuunulwa nti “Obwakabaka bwa Uganda bweyagaza. Obutonde bwawufu, embeera y’obudde njawufu naye ekisinga mu byonna, abantu baabwo ba njawulo ku kintu ekirala kye nnaalabye mu Africa wonna. Obubaka bwe mbakomezaawo, essira muliteeke ku Uganda.”
 
Dr. Fredrick Golooba Mutebi nga kakensa mu byobufuzi nga kati emirimu gye agikkakkalabiriza Rwanda ayongera okukiggumiza nti, erinnya Buganda lyakaluubirira Abazungu bwe batyo ensi gye bajjamu ne bagiyita Uganda.
 
“ Uganda kyava ku Bazungu kukaluubirirwa okwatula erinnya Buganda era nga boogera Wuganda bwe lityo eggwanga ne libatizibwa erinnya Uganda. Kino kyali kityo lwa kuba wano mu Buganda we baatuukira ne basinziira wano okutuukiriza ebigendererwa byabwe,” Dr. Golooba bwe yannyonnyodde.
 
Ate Dr. Adam Kimala Nsubuga nga naye muwandiisi wa bitabo yategeezezza nti, Abazungu baali tebannamanyiira bigambo bya Luganda, Buganda ne bagiyita Uganda.
 
“ Bwe baakitegeera era bwe baagigattako ebitundu ebirala baagituuma Uganda ate Buganda ne bagiyita Uganda ‘Proper’.
Okutuumibwa kw’ensi eno Uganda okuva mu Buganda kyayanguwa mangu okugitunda mu mawanga amalala kubanga erinnya lyali lirudde nga limanyiddwa obutafaananako nsi ndala ezaafuna amannya amapya", Dr. Kimala bwe yannyonnyodde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Namatambaga1 220x290

Muwala wa Katikkiro Mayiga agattiddwa...

Muwala wa Katikkiro Mayiga agattiddwa ne kabiite we mu kitiibwa

Kiru10 220x290

Abavubuka mwagale nnyo ensi yammwe...

Abavubuka mwagale nnyo ensi yammwe nga Kirumira bwe yakola - Bobi Wine

Twa 220x290

Museveni agguddewo olutalo oluggya...

PULEZIDENTI Museveni atongozza kaweefube ow’enjawulo agenderera okumalirawo ddala Siriimu omwaka 2030 we gunaatuukira....

Many 220x290

Eyazadde abaana 5 omulundi gumu...

Honoranta Nakato, 44, abaana yabazaalira mu ddwaliro lya Women’s Hospital ,International and Fertility Centre e...

Dpn6kdew0aa2dy 220x290

Putin asuubizza okuyamba Uganda...

PULEZIDENTI wa Russia, Vladimir Putin, akubagizza Uganda olw’okufiirwa abantu abasoba mu 46 abaabuutikiddwa ettaka...