TOP

Ebya Kitatta bijulidde

By Musasi wa Bukedde

Added 24th September 2018

Kino kitegeeza Kitatta wakubeera mu kkomera okumala okumala ebbanga eritamanyiddwa okutuusa abakulu lwe banakomawo okuva e Somalia.

Kita 703x422

Kitatta ku kkooti gye buvuddeko.

Bya MARGRET ZALWANGO

EBYA Kitattta okuva mu kkomera byongedde okwesiba, bannamaggye abamuwozesa bwe bataatudde ku lunaku lwe bamuwa ate ng’essaawa yonna baakufuluma eggwanga. 

Kitatta yabadde yaweebwa olwa September 24 okukomezebwawo mu kkooti ku kusaba kwe okwokweyimrirwa kyokka kkooti eno teyatudde era abantu ba Kitatta bakira bakomezebwa ku geeti n ebakabatema nti kkooti tegenda kutuula. 

Ng’ojjeeko obutamuleeta ku mmande, tasuubira kuleteebwa mu kkooti mu nnaku za kumpi kubanga abakulu mu kkooti eno essawa yonna basitula kugenda Somalia okuwulira emisango ejaddizibwa abajaasi abali eyo.

Kitatta yassaamu okusaba kwe nga September 10, nga guno gwali mulundi gwa kubiri kyokka oludda oluwaabi ne lusaba olwa September 17, naye era oludda oluwaabi ne Lutawaayo kwanukula kwalwo ku kukusaba kwe olwo kkooti neewa olwa 24 leero. Kyokka nalwo tebatudde. 

 Kino kitegeeza Kitatta wakubeera mu kkomera okumala okumala ebbanga eritamanyiddwa okutuusa abakulu lwe banakomawo okuva e Somalia. 

Kitatta ng’ayita mu looya we, Sienna Owomugisha yasaba kkooti y’amaggye ekubirizibwa ssentebe, Lt Gen Andrew Gutti  emuyimbule ng’agamba nti alina akirwadde ekimubala embiriizi , nayongerako nti ddembe lye erimuweebwa ssemateeka okweyimrirwa . 

Ono era yategeeza nti Kitatta alina amaka n’abaana ssaako abantu abalala abokulabirira nga okubeera mu kkomera abantu be babeera mu kubonabona. 

Kitatta nga ye ssentebe wa NRM mu Lubaga era ssentebe w’ekibiina kya Bodaboda 2010 yakwatibwanga Januaray 20 , e Wakaliga mu wooteri ya Vine Tea ne basajja be 11. 

Baasimbibwa mu kkooti y’amaggye e Makindye ne bavunaanibwa emisango gy’okusangibwa n’emmundu mu ngeri emenya amateeka, okubeera n’amasasi n’ebyambalo bya UPDF ng’ate si bannamaggye. 

Abalala baavunaanibwa nabo kuliko, Joel Kibirge, Ibrahim Ssekajja , Sowali Ngoobi, Matia Ssenfuka,  Jonathan Kayondo,  Hassan  Ssengooba, , Sunday  Ssemwogerere,  John Sebandeke,  Hussein Mugema,  Amon Twinomujuni ne  Bwanika Fred ,nga baakwatiba nga January 19 ne 20.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Rupiny1 220x290

Africell eyiye kavu wa bukadde...

KAMPUNI y’amasimu eya Africell etadde kavu wa bukadde 15 mu mpaka z’omupiira ez’okukuza amazaalibwa ga Yesu ezitegekeddwa...

Title 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUTAANO YATUUSE DDA...

Militale etandise ebikwekweto bya Ssekukkulu era eyodde 200 abatigomya Kampala n’emiriraano.

Noise 220x290

Abatendeka baddereeva abamu ba...

BADDEREEVA okulemeramu okuvugisa ekibamo kivudde ku masomero mwe baayigira okuvuga agatalina bisaanyizo nga kye...

Plus 220x290

Bebe Cool awadde Bannayuganda essuubi...

OMUYIMBI Bebe Cool ayanjulidde Bannayuganda naddala abayimbi abakyanoonya okuvaayo ettu lye yabaleetedde okuva...

Fikfameika 220x290

Fik Fameica ali mu kkooti lwa kubba...

OMUYIMBI Fik Fameica bamututte mu kkooti ku bigambibwa nti yabba oluyimba.