Bya Eria Luyimbazi
POLIISI ekoze ekikwekweeto mu loogi z’oku William Street n’ekwata abakazi mukaaga abakola obwa malaaya abagambibwa okusikambula omusajja enzaalwa ya Ethiopia ne bamubbako ssente n’ebiwandiiko bye.
Bino bya baddewo ku Ssande abaserikale okuva ku poliisi ya CPS mu Kampala bwe baakutte abakazi bano oluvannyuma omusajja Teijje Tereje enzaalwa ya Ethiopia okwekubirayo enduulu.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti poliisi yatemezeddwaako abantu abaalabye abakazi nga basikambula Teijje nga bamuyingiza loogi ku kifuba oluvannyuma ne bamwambulamu engoye ne bakuulita nazo, ng’okuvaayo mu loogi yezingiridde mu ssuuka.
“Tukutte abakazi mukaaga nga bano kigambibwa nti babbye omusajja gwe baasikambudde ku kifuba ne bamuyingiza loogi oluvannyuma ne bamubba nga bino byabadde mu loogi eriraanye ebbaala ya Top Pub “ Owoyesigyire bwe yategeezezza.
Yagambye nti ku bakwate kuliko, Jesca Karungi, Sharon Nakasi, Joy Apondo, Shamim Nabatanzi, Jovia Nabukeera n’omulala eyategerekeseeko erya Aisha.

Oweyesigyire yategezezza nti poliisi yayazizza loogi mwe baatutte Teijje n’esangayo engoye ze, paasiport ye ate bbo abakazi abamu ne bakomyawo emitwalo 35 kyokka doola 700 ne balemwa okuzizza nga kigambibwa nti waliwo munnaabwe eyabuzeewo nazo.
Abakazi bano abakuumirwa ku CPS bagguddwaako omusango oguli ku fayiro SD 10/23/09/2018 ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.