TOP

Omuliro gw'okyezza enju y'omusawo

By John Bosco Mulyowa

Added 24th September 2018

NABBAMBULA w’omuliro asaanyizzaawo amaka g’omusawo ebintu bya bukadde ne bitokomoka okubadde n’emmotokka.

Mulironnyumba2 703x422

Abadduukirize nga bagezaako okuzikiriza omuliro ogwakutte enju.

Bya JOHNBOSCO MULYOWA

NABBAMBULA w’omuliro asaanyizzaawo amaka g’omusawo ebintu bya bukadde ne bitokomoka  okubadde n’emmotokka.

Bino bigudde mu kibuga Masaka, kyokka poliisi ezikiriza omuliro ne tabayamba olw’emmotokka zaayo ezizikiza omuliro okubeera nga zaafa era nga zaatuula ku kitebe kya poliisi e Masaka!

Omuliro guno ogwaataandise ku ssaawa kkumi neemu ez’okumakya ku Ssande  gwaasanyizaawo  amaka g’omusawo Joachim Mushabe ku kyaalo Sennyange A mu Munisipaali y’e Masaka, era ng’abadduukirize baalemereddwa okubaako kye bakola okutaasa olw’omuliro ogwaabadde gutuntumuka.

Kigambibwa nti omuliro gwataandikidde mu galagi omwabadde emmotokka era ng’ekintu kyabaluse omulundi gumu n’ekyazzeeko muliro kusasaanira nnyumba yonna mu bwangu obw’ekitalo.

Mmotokka ya disitulikiti y’e Masaka ey’amazzi yeeyasobodde okujja okutaasaako naye nga weyatuukidde nga mpaawo kiyinza kutaasibwa.

Omwogezi wa poliisi, e Masaka Lameck Kigozi yategeezezza nti kituufu balina okusoomoozebwa olwokuba nti tebakyalina mmotokka neemu ezikiza muliro erina okukola mu disitulikiti zonna omwenda ezikola Greater Masaka era nga bassaayo dda okusaba kwaabwe eri bakamabaabwe ku nsonga eno  kyokka nga babadde tebanaweebwa mmotokka ndala.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Namatambaga1 220x290

Muwala wa Katikkiro Mayiga agattiddwa...

Muwala wa Katikkiro Mayiga agattiddwa ne kabiite we mu kitiibwa

Kiru10 220x290

Abavubuka mwagale nnyo ensi yammwe...

Abavubuka mwagale nnyo ensi yammwe nga Kirumira bwe yakola - Bobi Wine

Twa 220x290

Museveni agguddewo olutalo oluggya...

PULEZIDENTI Museveni atongozza kaweefube ow’enjawulo agenderera okumalirawo ddala Siriimu omwaka 2030 we gunaatuukira....

Many 220x290

Eyazadde abaana 5 omulundi gumu...

Honoranta Nakato, 44, abaana yabazaalira mu ddwaliro lya Women’s Hospital ,International and Fertility Centre e...

Dpn6kdew0aa2dy 220x290

Putin asuubizza okuyamba Uganda...

PULEZIDENTI wa Russia, Vladimir Putin, akubagizza Uganda olw’okufiirwa abantu abasoba mu 46 abaabuutikiddwa ettaka...