TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abazadde balumbye essomero lw'abaana baabwe abaabula

Abazadde balumbye essomero lw'abaana baabwe abaabula

By John Bosco Mulyowa

Added 24th September 2018

POLIISI e Kyotera eggalidde dayirekita w’essomero lya Kyotera Infant Pri.Sch, ne Heedimasita w’essomero lino ng ababalumiriza obulagajjavu obw abaviirako abaana babiri okuva mu kisulo ky’essomero lino ne babula mu ngeri etaategerekeka kati ebbanga lya wiki nnamba!

Kyotera1 703x422

DPC Kayongo (mu yunifoomu) ng'akkakkanya abazadde.

Bya JOHNBOSCO MULYOWA

 POLIISI e Kyotera eggalidde dayirekita w’essomero lya Kyotera Infant Pri.Sch, ne Heedimasita w’essomero lino ng ababalumiriza obulagajjavu obw abaviirako abaana babiri okuva  mu kisulo ky’essomero lino ne babula  mu ngeri etaategerekeka kati ebbanga lya wiki nnamba!

Okukwaatibwa kwa bano kyaddiridde bazadde boomu ku mwana eyabula Newton Matovu 12, abadde asoma mu P.6 era abadde Head Boy ku ssomero lino okulumba essomero ne bakubagana ebikonde naabamu ku basomesa abasaangiddwaawo nga baagala babannyonnyole amayitire g’omwana waabwe.

Mu lutalo luno abasomesa babiri baaakubiddwa bubi nnyo!

Olutalo luno lwakkakanyiziddwa poliisi y’e Kyotera eyabadde edduumirwa DPC Musa Kayongo eyazze n’abaserikale ne basobola okutaasa abasomesa abaabadde bakubwa ng’eno abaana ku ssomero bwe bakuba enduulu n’okukaaba era poliisi ekutte abazadde bano  okubadde nnyina wa Matovu eyabula Debrah Namubiru ne batwaala ku kitebe kya poliisi e Kyotera.

Bazadde ba Matovu baabadde bakyaawuttula abasomesa ate omuzadde omulala Amos Kizito okuva e Buddo nga naye kitaawe womwana Micheal Kikonyogo 11 abadde asoma P.2 ku ssomero lino naye naatuuka oluvannyuma lw’okufuna amawulire nti naye omwana we, yabula okuva mu kisulo kyessomero lino!

Ku poliiisi DPC Kayongo yeevuumbye akafubo n’abazadde b’abaana bano okusala entotto ku ngeri poliisi gy’egenda okubayamba okuzuula abaana.

Abazadde balumirizza essomero obutaafaayo ku baana baabwe okubakuuma kwossa okunoonya nga babuze nga kyebaakola kyokka kutegeeza poliisi.

Omusango guli ku fayiro namba CRB 489/2018 ku poliisi e Kyotera.

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Namatambaga1 220x290

Muwala wa Katikkiro Mayiga agattiddwa...

Muwala wa Katikkiro Mayiga agattiddwa ne kabiite we mu kitiibwa

Kiru10 220x290

Abavubuka mwagale nnyo ensi yammwe...

Abavubuka mwagale nnyo ensi yammwe nga Kirumira bwe yakola - Bobi Wine

Twa 220x290

Museveni agguddewo olutalo oluggya...

PULEZIDENTI Museveni atongozza kaweefube ow’enjawulo agenderera okumalirawo ddala Siriimu omwaka 2030 we gunaatuukira....

Many 220x290

Eyazadde abaana 5 omulundi gumu...

Honoranta Nakato, 44, abaana yabazaalira mu ddwaliro lya Women’s Hospital ,International and Fertility Centre e...

Dpn6kdew0aa2dy 220x290

Putin asuubizza okuyamba Uganda...

PULEZIDENTI wa Russia, Vladimir Putin, akubagizza Uganda olw’okufiirwa abantu abasoba mu 46 abaabuutikiddwa ettaka...