TOP

Bebe Cool agenze mu Amerika kusakira balwadde bakafuba bujjanjabi.

By Martin Ndijjo

Added 24th September 2018

Bebe Cool agenze mu lukung’ana lw’ekibiina ky’amawanga amagatte (UN) kusakira balwadde bakafuba ssente za bujjanjabi.

Bi 703x422

Bebe Cool mu nnyonyi

KU kusanyusa Bannayuganda ng’abakubira emiziki egibacamula, omuyimbi Bebe Cool (Moses Ssali) agasseko okwenyigira mu by’obulamu ku mulundi guno avuddeyo kusakira balwadde bakafuba (TB) ssente za bujjanjabi

Bebe Cool eyakatwala abaana abalwadde b’emitima mukaaga mu Buyindi okulongoosebwa,

alondeddwa ab’ekitongole kya ‘Uganda Stop TB Partnership’ (USTP) nga bali wamu ne ‘Geneva Partners United Nations Office for Project Services’ (UNOPS) okubeera ‘Ambasada’ wa Uganda mu kawefube gwe baliko okufufugazza obulwadde bwakafuba  emu ku ndwadde zi nnamutta.

W’osomera bino Bebe Cool agenze mu Amerika kwetaba mu lukung’ana lw’ekibiina ky’amawanga amagatte (UN) olugenderedwamu okwongera okusala amagezi okulwanyisa obulwadde buno obukyali obw’omutawaanaUnited Nations High Level Meeting on Tuberculosis’ (UNHLM)

Ng’ogyeko okusisinkana n’okwogereganya n’abavujjirizi b’ensimbi mu by’obulamu abagenda okwetaba mu lukung’aana luno olugenda okumala ennaku nnya (23 -27 September 2018) ku kitebe kya UN mu kibuga New York okulaba nti asakira Uganda ssente z’okujjanjaba abalwadde buno,

Bebe Cool awereddwa obuvunanyizibwa obulala omuli; okusomesa n’okumanyisa Bannayuganda obulabe obuli mu bulwadde buno, engeri y’okubulwanyisa n’okwewala okubusaasaanya.

Bebe Cool asanyukidde obuvunaanyizibwa obumuwereddwa era agamba wakwongera okugatta ettofaali ku by’obulamu mu ggwanga nga bw’azze akola

Okusinzira ku minisitule y’ebyobulamu Uganda ekyali mu mawanga 30 agakyasinga okukosebwa olw’obulwadde buno mu nsi.

Obulwadde bwakafuba bukyali bwa bulabe nnyo eri obulamu bwa Bannayuganda abantu 80,000 be balwala n’okufa obulwadde buno buli mwaka omuwendo oguli waggulu ku 60,000 abafa n’okukwatibwa akawuka ka siriimu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bre 220x290

Aba Miss Uganda batongozza okugaba...

Aba Miss Uganda batongozza okugaba paadi mu masomero ng'erimu ku makubo okumalawo ekizibu ky'abayizi abawala abayosa...

Lukyamuziwebuse 220x290

Mukozese ekisiibo okwezza obuggya...

Abayizi bakubiriziddwa okukozesa ekisiibo kino okwenenya olwo bafune obulamu obulungi.

Gattako 220x290

Hosni Mubarak owa Misiri yafudde...

EYALI Pulezidenti wa Misiri, munnamagye Hosni Mubarak, bannansi gwe baanaabira mu maaso ne bamumaamula ku ntebe...

St14 220x290

Obululu bwa Stambic Uganda Cup...

Obululu bwa Stambic Uganda Cup bukwatiddwa

Got12 220x290

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja...

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja