TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Nakiwala avuddeyo ku mwana omubaka Onyango gwe yeegaana

Nakiwala avuddeyo ku mwana omubaka Onyango gwe yeegaana

By Henry Nsubuga

Added 25th September 2018

Minisita Nakiwala Kiyingi waakukaka omubaka Onyango okulabirira omwana gwe yasuulawo.

Nakiwala 703x422

Nakiwala ne Ainambabazi

Bya Henry Nsubuga

Minisita Nakiwala Kiyingi waakukaka omubaka Onyango okulabirira omwana gwe yasuulawo.

Omuwala Julian Ainambabazi (30) eyali akola mu bbaala emu e Mukono n’aganzibwa omubaka wa palamenti owa Samia Bugwe North, Gideon Onyango olwaleero afunye ku buweerero oluvannyuma lw’okusisinkana minisita w’abavubuka n’abaana, Florence Nakiwala Kiyingi n’amusuubiza okuwaliriza omubaka oyo okumulabirira n’omwana.

Kino kiddiridde Ainambabazi okwekubira enduulu ng’ayita mu lupapula lwa Bukedde ne Bukedde TV ng’eyo minisita gye yamulabirira n’amuyita awulire ensonga ze.

Ono ng’ali n’omwana gw’agamba nti kitaawe ye mubaka Onyango ku Lwokubiri yasisinkanye omubaka Nakiwala n’amuviira ku ntono akawonvu n’akagga ku nsonga ze.

Yategeezezza minisita Nakiwala nti omubaka Onyango yamusanga akola mu kirabo ky’emmere ekya Chillies e Mukono n’amukwana kyokka bwe yamufunyisa olubuto n’atandika okumwefuulira.

Ainambabazi yagambye nti wadde yagenda ku poliisi n’atuuka ne mu kkooti e Mukono nga yeekubira enduulu olwa Onyango ng’asuubira ayinza okuwalirizibwa ab’obuyinza n’addamu okumuwa obuyambi, n’okutuuka olwaleero kibadde tekinnasoboka.

 mubaka nyango Omubaka Onyango

 

Okusinziira ku Ainambabazi, Onyango yasembayo okumuwa obuyambi mu December w’omwaka oguwedde poliisi bwe yamuwaliriza okumuddiza omwana ono oluvannyuma lw’okumumubbako nga wa myezi mwenda.

Nakiwala yalaze okunyolwa olw’abasajja abasusse okuzaala mu bawala abaana ne babasuulawo nga tebaagala kubalabirira n’agamba nti woofiisiye bano egenda kubakwatako n’omukono ogw’ekyuma.

Yategeezezza nti obuvunaanyizibwa bw’okulabirira omwana buba bw’abazadde bombi nga ne bw’ekityo omubaka Onyango agenda kumuwandiikira basisinkane bagonjoole ensonga zaabwe.

Ye Ainambabazi yasiimye aba famire ya Bukedde  olw’okumuyamba n’atuusa okwemulugunya kwe eri abo be yali tasobola kutuukako ebbanga lyonna ly’amaze mu bulumi.

Ono yasiimye ne minisita Nakiwala olw’okusitukiramu n’amuyita n’atunula mu nsonga ze n’agamba nti alina essuubi nti yandifuna ku buweerero.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Laga 220x290

Aba NRM ababeera mu mawanga g'ebweru...

SSABAWANDIISI wa NRM Kasule Lumumba asabye Bannayuganda abali mu mawanga g’ebweru okukomya okusiiga ensi yabwe...

Pata 220x290

Babakutte balimira mu kibira ky’e...

OMULAMUZI akulira kkooti ento e Masaka, Deogratious Ssejjemba yeesitudde n’agenda e Kasanje mu ggombolola y’e Kyesiiga...

Mate 220x290

Babakutte balimira mu kibira ky’e...

POLIISI y’e Mpigi ngeri wamu n’abakulira ekitongole ky’eby’ebibira mu ggwanga ekya National Forest Authority (NFA)...

Gano 220x290

Omugagga asenze ebintu bya Klezia...

KLEZIA n’abatuuze abalina ebibanja ku kyalo Nkakwa mu ggombolola y’e Ssi - Bukunja mu disitulikiti y’e Buikwe,...

Wanga 220x290

Obwaddereeva buliko emyaka gy’otolina...

OLUVANNYUMA lw’Omulangira Phillip bba wa Kwiini wa Bungereza, Elizabeth okufuna akabenje ng’avuga mmotoka ku myaka...