TOP

Ababaka balumurizza UPDF ku kutulugunya abavubi

By Ahmed Mukiibi

Added 26th September 2018

ABABAKA ba Palamenti bongedde okwanja obujulizi ku magye ga UPDF okutulugunya, okutyoboola eddembe ly’obuntu n’okusaanyaawo mu ngeri emenya amateeka emmaali y’abavubi n’abalala abakolera ku nnyanja.

Yogo 703x422

Omubaka wa Buvuma omukazi Nantume Egunyu ng’ayogera.

Mu lutuula olwakubiriziddwa omumyuka wa Sipiika Jacob Oulanyah, ababaka abava mu bitundu ebirimu eby’obuvubi, baalese obujulizi obulaga engeri abavubi n’abantu abalala gye battiddwa, okukubwa emiggo, amasasi n’emmaali yaabwe okusaanyizibwawo mu bikwekweto ebikolebwa abaserikale ba UPDF wansi w’eggye erya ‘Fisheries Protection Force’, Pulezidenti Museveni lye yassaawo mu February 2017 okulwanyisa envuba embi ku nnyanja za Uganda.

Olutuula lw’eggulo lwaddiridde Sipiika Rebecca Kadaga okwabula Palamenti ekimpatiira ku Lwokusatu oluwedde okutuuka ku Lwokubiri (eggulo) Gavumenti eyanje lipoota enzijuvu ku bigambibwa nti amagye ga UPDF gatulugunya n’okutyoboola eddembe ly’abantu abakolera ku nnyanja.

Minisita omubeezi ow’Ebyokwerinda avunaanyizibwa baazirwanako, Bright Rwamirama yayanjulidde Palamenti lipoota ya miko 45 ng’ennyonnyola ebibaddewo ku nnyanja ez’enjawulo okuva February 2017 n’agamba nti, wayinza okubaawo ebitatambudde bulungi naye okutwaliza awamu, UPDF ekoze omulimu ogw’okulwanyisa envuba embi, okwongera ku bungi bw’ebyennyanja era kati amakolero ag’ebyennjanja geeyongedde obungi.

Rwamirama yannyonnyodde ku kigambibwa nti waliwo abantu abattiddwa, abakubiddwa amasasi, n’emiggo ku nnyanja nga UPDF erwanyisa envuba embi n’agamba nti mu bitundu obujulizi gye buleeteddwa ng’abajaasi beeyisizza mu ngeri emenya amateeka, UPDF ebakangavudde abamu ne baggalirwa, abalala ne bagobwa.

Wabula ababaka ab’enjawulo baagaanyi okukkiriza ebyabadde mu kiwandiiko kya Minisita ne balaga obujulizi obw’aba UPDF abaduumirwa Maj. Nuwagaba okutwalira amateeka mu ngalo era baasabye omuduumizi wa UPDF okuwummuza Maj. Nuwagaba.

Ababaka George Abott Ouma, Geoffrey Macho, Paul Mwiru, Egunyu Nantume n’abalala baawadde obujulizi obuluma aba UPDF mu kutulugunya n’okusaanyaawo emmaali y’abasuubuzi n’abavubi nga beerimbise mu kulwanyisa envuba embi.

Macho yatabukidde Minisita Rwamirama okumala gawolereza aba UPDF nti tebaggya ku bavubi ssente n’agamba nti alina abavubi abasobola okulumiriza aba UPDF okubaggyako ssente zaabwe.

Ouma ye yagambye nti abavubi bangi bamutuukiridde nga balina obujulizi ku ba UPDF okubasanga wakati mu nnyanja ne basumulula yingini ku maato gaabwe ne babaleka wakati mu nnyanja okufiiramu.

Mwiru yagambye nti alina olukalala lw’abavubi b’omu Jinja abatulugunyiziddwa UPDF era balina ebisago by’amasasi ne kibooko ebibatuusiddwaako aba UPDF.

Nantume yeewunyizza UPDF gye yajja obuyinza okugaana abavubi okukalirira ebyennjanya byabwe kyokka kino Rwamirama yakiwakanyizza nti ssi kituufu kijjuddemu okuwaayiriza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kuba 220x290

Bamulumirizza okwokera mukazi we...

OFIISA wa poliisi ategeezezza kkooti y’omulamuzi Agnes Alum e Nakawa nga Mohammed Kateregga avunaanibwa omusango...

Pata 220x290

'Bawala bange bankuba ne bannyiga...

TAATA alumirizza bawala be okumukuba ne bamunyiga obusajja okukkakkana nga bamulaaye.

Ssengalogo1 220x290

Ayagala tuddemu omukwano

n’awasa omukyala omulala ne bazaala n’abaana. Naye kati yakomawo gyendi nti ayagala kumpasa era ampangisize ennyumba...

Hab2 220x290

Abadde yeyita owa URA n'afera abantu...

Abadde yeyita owa URA n'afera abantu bamugombyemu obwala

Mutaka 220x290

Omutaka w’e Salaama eyalaama okumuziika...

MUSAJJAMUKULU awuniikirizza mukyala we, abaana n’abooluganda bwe babaggyiddeyo ekiraamo okukibasomera nga yalaama...