TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ekirwanya omuyimbi Kusasira ne Minisita Namuganza kiikino

Ekirwanya omuyimbi Kusasira ne Minisita Namuganza kiikino

By Ahmed Mukiibi

Added 26th September 2018

OMUYIMBI Catherine Kusasira Serugga avudde mu mbeera n’agugumbudde Minisita Persis Namuganza nti, “Tonzungirako nze ndi muliro nja kubabulababula weevume n’ekyakuleeta mu Kampala. Namuganza nkulabula nze Kusasira ssiri sayizi yo, toddangamu okunzungirako. Ndi muyaaye w’e Kampala nkola binnyumira.... nvaako.... nneesonyiwa, mpozzi oyagala nkuvume nkwogoloze”, Kusasira bwe yatabukidde Namuganza bwe yabadde ayogera ne Bukedde eggulo.

Mbaata 703x422

Minisita Namuganza ne Kusasira

Kusasira okuzza omuliro kyaddirira Minisita Namuganza okumulumba nti, bye yakoze (Kusasira) okwetikka ssente za Pulezidenti obukadde 20 ez’amataaba okuzitwala mu famire y’omugenzi Yasin Kawuma nga Bobi Wine yakavaayo kwabadde kuvumaganya mukulembeze w’eggwanga.

“Omuntu nga Kusasira tategeera byabufuzi bya ggwanga nga bwe bitambula. Lwaki olinda Bobi Wine okuva mu Amerika n’agenda ewa Yasin naawe n’ogendayo ne ssente. Okwo kubeera kuvumaganya Pulezidenti mu bantu”, Minisita Namuganza bwe yategeezezza mu bubaka bwe yatadde ku facebook.

Yagasseeko nti, “Bobi Wine amaze omwezi mulamba, lwaki omulinda okudda olwo n’olyoka ogenda mu famire, Bobi Wine yali atutte ntaana ya Yasim mu Amerika?”, Namuganza bwe yabuuzizza Wabula mu kumwanukula, Kusasira yamugambye nti, “Gundi nze hhendaako mpola, nkulinako bwiino omuvundu muyitirivu, bwe nnaasumulula tojja kukyagala.” Kusasira yavudde mu mbeera n’atuuka n’okulangira Namuganza nti kirabika aliko ekikyamu kubanga nti ye Minisita akwata ekifo ekisooka mu kuvumaganya Gavumenti ne Pulezidenti Museveni olw’emivuyo gye egitaggwa.

“Nze tombakira siri sayizi yo, hhendako mpola kuba ndi muyaaye eyavumwavumwa edda, ssirina gwe ntya, olabika ombulako, nze ssiri Kadaga oba Nantaba b’osiiba ovuma ne basirika!”, Kusasira bwe yawanze omuliro.

NDI MWESIMBU OKUSINGA BAMINISITA ABAAWULA PULEZIDENTI - KUSASIRA

Kusasira eyabadde omunyiivu ennyo yalangidde Namuganza nti y’omu ku balwanyisa Gavumenti nga basinziira munda n’amuddamu nti, “Nze Kusasira ndi wa Pulezidenti Museveni ne Namuganza bw’aba yeeyita wa Pulezidenti Museveni lwaki annumba mu lujjudde ng’alina ky’alabye ekitagenze bulungi?”.

Yategeezezza nti okudduukirira aba famire ya Yasin Kawuma kyandibadde kikolebwa bbo nga baminisita kyokka bonna beetuddeko n’agamba nti, yandibadde amusiima mu kufo ky’okumubakira ku bitamukwatako.

Kusasira nga muyimbi mu Golden Band yategeezezza Bukedde nti ye aludde ng’ayamba abantu ab’enjawulo okubayunga oba okubasakira obuyambi okuva ewa Pulezidenti Museveni n’agaana okumenya amannya gaabwe nti ssi kya buntubulamu.

Kyokka yawadde ekyokulabirako nti waliwo omukyala eyazaala abaana abana (4) omulundi gumu ng’alina kookolo w’amabeere era ng’asigazza ebbeere limu nga kati ali mu nteekateka y’okumusakira obujjanjabi ewa Pulezidenti Museveni.

Yannyonnyodde nti famire ya Kawuma ssi gy’asoose okusabira ssente okuva ewa Pulezidenti kuba kino aludde ng’akikola ne Pulezidenti Museveni amwesiga n’okusinga ne baminsita nga Namuganza kubanga mwesimbu.

Ku mulundi guno, Kusasira yagambye nti, okwawukanako nga bulijjo yasazeewo bissibwe mu mawulire kuba okugenda wa Pulezidenti yasooka kulaba mu mawulire ng’aba famire ya Yasim basaba buyambi era bwe yafunye ssente kwe kwagala azibakwase ng’abaamawulire balaba.

NNINA SSENTE ZANGE- KUSASIRA

Yeewaanye nti ye enjawulo gy’alinawo okwawukana ku baminisita oba abakozi ba Gavumenti abalala nti ye obuyambi abutuusa mu bujjuvu mu babwetaaga sso ng’abalala babubbira mu kkubo ng’era y’ensonga lwaki bamulwanyisa kuba balaba mukyala mwesimbu ng’era y’ensonga lwaki Pulezidenti yasazeewo kuyita mu ye.

Kusasira yagambye nti ye ssente alina ezimumala ng’azikoze mu kuyimba era atuuse mu nsi nnyingi n’ebifo eby’ebbeeyi takyalina kyalulunkanira.

Yagasseeko nti talina kirowoozo okwesimbayo wadde okwegwanyiza ofiisi emu ng’abamu bwe babijweteka n’okutandika okumulumba nga batidde nti waakubatwalako agafo gaabwe.

“Nze ndi mukwano gwa Museveni ng’omuntu ng’era mmuwagira kuba annyambye mu bizibu bingi era y’ensonga lwaki mukumuwagira simuswalira wadde okutiitiira ng’abalala abamulyamu bwe beekweka”.

Kusasira kuno ayongerako nti asakidde bangi ssente ne zituuka ate oluvannyuma ne baddayo okwebaza Pulezidenti Museveni ng’era kirabika wano we yasinzidde okusalawo okuzimutikka azituuse.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabakafitri1 220x290

Kabaka ayagalizza Abasiraamu Idd...

KABAKA Ronald Muwenda II alagidde Bannayuganda okukuuma emirembe n’okusonyiwagana mu kiseera kino ng’Abasiraamu...

Mknded4 220x290

Famire eziyiridde mu nnyumba nga...

Abasiraamu mu kibuga ky’e Mukono baaguddemu encukwe ku Iddi munnaabwe eyabadde akedde ku maliiri okufumba emmere...

Mknmm3 220x290

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa...

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa Mukono ng’alina Corona virus-atwaliddwa mu kalantiini n’abalala babiri be...

Ssaavasennyonga 220x290

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere...

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere ya bukadde 300 okudduukirira abali ku muggalo

Lockdown309 220x290

Eyali awola ssente azzeeyo mu nnimiro...

ENSWA bw'ekyusa amaaso naawe ng'envubo okyusa ne Charles Tamale envubo agikyusirizza mu nkumbi okubaako ettofaali...