TOP

Ababba engoye ne bazikweka mu mbugo babakutte

By Musasi wa Bukedde

Added 26th September 2018

POLIISI e Matugga erwanaganye n’abatuuze b’e Matugga mu Ggombolola y’e Gombe mu Munisipaali y’e Nansana bw’ebadde etaasa abakazi basatu abaayingidde mu dduuka ly’engoye ne batandika okuzipakira mu mbugo.

Aniima 703x422

Akumo, Atim (wakati) ne Achan ku poliisi e Matugga.

Abakazi bano kuliko; Gorrete Akumo 33, Atim Raymond 26, ne Achan Jenipher 33, nga batuuze b’e Mengo - Kisenyi.

Engoye baabadde bazibbye mu dduuka lya Hariet Nalunkuuma nga beefuude bakasitoma nga beebikkiridde nga bahajati.

Nalunkuuma yabeekengedde n’akunga abatuuze abatandise okubakuba okwagala okubatta era wano poliisi w’eyatuukidde n’erwanagana nabo okusobola okubataasa.

Nalunkuuma nnannyini dduuka yagambye nti abakazi bano lumu baagenda ku dduuka ne bamubba bwe yali aleseewo bba mu dduuka ne batwala engoye za ssente 35,000/-.

Abakazi bano nga batuuse ku poliisi baagambye nti, engoye ze baabasanze nazo baabadde baziguze. Omusango guli ku fayiro nnamba SD16/19/09/2018.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabakafitri1 220x290

Kabaka ayagalizza Abasiraamu Idd...

KABAKA Ronald Muwenda II alagidde Bannayuganda okukuuma emirembe n’okusonyiwagana mu kiseera kino ng’Abasiraamu...

Mknded4 220x290

Famire eziyiridde mu nnyumba nga...

Abasiraamu mu kibuga ky’e Mukono baaguddemu encukwe ku Iddi munnaabwe eyabadde akedde ku maliiri okufumba emmere...

Mknmm3 220x290

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa...

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa Mukono ng’alina Corona virus-atwaliddwa mu kalantiini n’abalala babiri be...

Ssaavasennyonga 220x290

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere...

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere ya bukadde 300 okudduukirira abali ku muggalo

Lockdown309 220x290

Eyali awola ssente azzeeyo mu nnimiro...

ENSWA bw'ekyusa amaaso naawe ng'envubo okyusa ne Charles Tamale envubo agikyusirizza mu nkumbi okubaako ettofaali...