TOP

Ab’e Kyaggwe beebugira Ssaabasajja

By Musasi wa Bukedde

Added 26th September 2018

“Tutadde amaanyi mu bulungibwansi n’ebigendererwa bibiri ng’ekisooka ky’ekyokulongoosa amakubo Omutanda mw’agenda okuyita n’ekyokutumbula obuyonjo mu masaza ag’enjawulo,” Ssekiboobo bwe yagambye.

Abamukubabaddebeetabyemubulungibwansinew1 703x422

Abamu ku beetabye mu bulungibwansi. Mu katono ye Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo.

Omwami wa Kabaka atwala essaza ly’e Kyaggwe, Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo alambuludde enteekateeka egenda okugobererwa mu kukyala kwa Ssaabasajja Kabaka mw’agenda okulambula amasaza ag’enjawulo mu kibuga Mukono.

Ssekiboobo yagambye nti enteekateeka egenda okusookera ddala ye y’okutongoza omukolo gwa bulungibwansi nga October 1, 2018 nga gwakuggulwawo Katikkiro, Charles Peter Mayiga ku kyalo ky’e Kikooza.

“Tutadde amaanyi mu bulungibwansi n’ebigendererwa bibiri ng’ekisooka ky’ekyokulongoosa amakubo Omutanda mw’agenda okuyita n’ekyokutumbula obuyonjo mu masaza ag’enjawulo,” Ssekiboobo bwe yagambye.

Yayongeddeko nti Omutanda asuubirwa okujja e Kyaggwe nga October 6, 2018  wabula ng’agenda kusooka kutalaaga amagombolola ag’enjawulo okuviira ddala e Goma, Kyampisi n’amalala mangi ng’era waakusisinkana omuvubuka asinga amanyiddwa nga Ssebunnya, oluvannyuma akomekkereze  olugendo lwe mu ggombolola y’e Ntenjeru mu disitulikiti y’e Mukono, awagenda okubeera emikolo emitongole nga October 8, 2018.

Ssekiboobo ayongeddeko  nga bwe wagenda okubaawo enteekateeka  ya bannamateeka abagenda okusisinkana abatuuze mu disitulikiti y’e Mukono okubayamba okuvvuunuka ebizibu eby’enjawulo naddala ebyekuusa ku nsonga z’ettaka  ng’enteekateeka eno yaakubeera ku mbuga y’essaza lino ery’e Kyaggwe.

Ayongeddeko ng’era bwe wagenda okubaawo omusomo gw’abasajja nga October 7, 2018 ku kyalo ky’e Kisoga e Salaama, abasomesa okuviira ddala e  Mengo mwe bagenda okusomesa abasajja ku ngeri y’okumanya n’okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe.

“Tukkiriza nti abasajja nabo babeera n’ebizibu ebyabwe noolwekyo bagenda kuweebwa omwagaanya okubuulira abasomesa bano ebizibu bye basanga mu bulamu bwabwe obwa bulijjo n’engeri y’okubivvuunuka,” Ssekiboobo bwe yagambye.

Ate ye omutaka Kaddu Namutwe  asanyukidde ekikolwa ky’abatuuze  bano  okuva mu ggombolola y’e Goma ne Kawuga olw’omukwano omungi gwe balina eri Obuganda naddala Beene olw’okulongoosa n’okwerula amakubo ag’enjawulo mw’agenda okuyita.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lop2 220x290

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye...

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye Bannayuganda okubeera abaweereza abalungi

Kuba 220x290

Minisitule efulumizza entegeka...

MINISITA w’Ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni azzizzaamu abazadde, abayizi n’abasomesa essuubi nti singa...

Kip1 220x290

Geo Steady ne mukazi we, Prima...

Geo Steady ne mukazi we, Prima omulamwa gwa Corona bagutegeera

Lab1 220x290

Fifi agabidde eb’e Ggaba eby’okukozesa...

Fifi agabidde eb’e Ggaba eby’okukozesa mu kiseera kya Kalantiini

Shutterstockeditorial10434333bm 220x290

Coronavirus: Amerika kiri bubi,...

Corona ayongedde okwewanisa abantu emitima okwetooloola ensi yonna era Pulezidenti wa Amerika Donald Trump yalabudde...