TOP

Eyagenze okusaba afiiridde mu kkanisa e Nsambya

By Ponsiano Nsimbi

Added 26th September 2018

OMUSAJJA eyagenze mu kusaba kwe kiro afiiridde mu kkanisa n'akuba abagoberezi n’abatuuze encukwe!.

Kkanisa4 703x422

Micheal Jjuuko ye yafiiridde mu  kkanisa ya Christian Evangelistic Ministry esangibwa mu Buyondo zooni e Nsambya  mu munisipaali y'e Makindye  okulirana Club Texas.

Eseza Asaba, omu ku baabadde mu kusaba kuno agamba nti Jjuuko abadde amaze ebbanga nga takyasabira mu kkanisa eno wabula ku Mmande ku ssaawa 9:00 ez'akawungezi yabeegassekko ne bamwaniriza.

Agamba nti omugenzi yabategeezezza  nga bwe yabadde awuliramu omusujja wabula ne batakitwala nga kikulu era  obudde  olwazibye  ne batandika okusaba  okutuusa ssaawa  5:00 ez’ekiro ne beebaka .

‘’Twabadde tusigaddemu basatu; nze , Frank Jjumbu ne Jjuuko eyafudde era twasose kunyuma mboozi nga tetunneebaka," Asaba bwe yategeezezza.

Ku ssaawa  8:00 ogw’ekiro, Jjuuko yatandise okwesika  nga bw'akolola ekyatutiisizza ne tugolokoka okulaba ogubadde. Mu kiseera kino bye yabadde ayogera byabadde tebikwatagana era waayisewo akaseera katono n'akutuka.

Landlady, Collines Atusingirwe  yategeezezza nti ye yabadde takimanyiiko nti mu kkanisa musulamu abantu wabula ng'akimanyi nti batera okubeerawo n’okusaba kw'ekiro era obudde bwabadde bukya Asaba ne Jjumba  ne bankonkona nga bategeza nga munnaabwe abafuddeko.

Ssentebe w'ekyalo Siraje Bukenya yategeezezza nti  olwamutegeezezza n'atemya ku poliisi y'e Kabalagala eyatutte omulambo mu ddwaliro ly'e Mulago.

Ono agamba nti okusinzira ku kunoonyereza kwe, Jjuuko alabika yafudde njala.

Yayongeddeko nti ono tabadde mutuuze wa mu kitundu yadde ng’abadde atera okukolera emirimu gy’okusiga langi.

Oluvannyuma poliisi okuva e Kabalagala yazze ne yeekebejja omulambo ne gutwalibwa mu ggwanika e Mulago  ng’okunoononyerezza bwe kugenda mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabakafitri1 220x290

Kabaka ayagalizza Abasiraamu Idd...

KABAKA Ronald Muwenda II alagidde Bannayuganda okukuuma emirembe n’okusonyiwagana mu kiseera kino ng’Abasiraamu...

Mknded4 220x290

Famire eziyiridde mu nnyumba nga...

Abasiraamu mu kibuga ky’e Mukono baaguddemu encukwe ku Iddi munnaabwe eyabadde akedde ku maliiri okufumba emmere...

Mknmm3 220x290

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa...

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa Mukono ng’alina Corona virus-atwaliddwa mu kalantiini n’abalala babiri be...

Ssaavasennyonga 220x290

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere...

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere ya bukadde 300 okudduukirira abali ku muggalo

Lockdown309 220x290

Eyali awola ssente azzeeyo mu nnimiro...

ENSWA bw'ekyusa amaaso naawe ng'envubo okyusa ne Charles Tamale envubo agikyusirizza mu nkumbi okubaako ettofaali...