TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri ebintu gye byatabuse ku Muntu ng’ava mu FDC

Engeri ebintu gye byatabuse ku Muntu ng’ava mu FDC

By Musasi wa Bukedde

Added 27th September 2018

MAJ. GEN. Mugisha Muntu amaze omwezi mulamba nga yamaliriza dda okukola lipoota ye era nga yali yasaba okusooka okusisinkana Dr. Kiiza Besigye agimwanjulire n’oluvannyuma agyanjulire Pulezidenti w’ekibiina Patrick Oboi Amuriat basalewo ekiddako.

Wano 703x422

Maj. Gen. Mugish Muntu

Wabula Muntu yabadde tannabasisinkana, ebiri mu lipoota ne bisomolwa era ne bituuka ku Besigye nga biraga nti Muntu yabadde asazeewo okwabulira FDC.

Besigye nti kino kyamunyiizizza n’agaana okusisinkana Muntu mu lukiiko olwabadde lutegekeddwa ku ofiisi z’oku Katonga Road ku Lwokutaano oluwedde.

Wakati mu kulemwa okulaba Besigye, Maj. Gen. Muntu yasazeewo lipoota agyanjulire Amuriat. Lipoota eno nti yali yaakwanjulwa nga n’enkyukakyuka Amuriat ze yakola mu b’oludda oluvuganya mu Palamenti tezinnakolebwa.

Mu nkyukakyuka zino mwe baasuulira Winnie Kiiza ku kifo ky’okukulira oludda oluvuganya gavumenti mu Palamenti.

Akafubo ka Muntu ne Amuriat kaabadde kalina okubeera ku kitebe kya FDC e Najjanankumbi kyokka kaakyusiddwa ne kazzibwa ku Fairway Hotel olw’okwekengera abantu abayinza okutabangula.

Bwe baatuuse mu kafubo ku ssaawa nga 4:00 ez’oku makya ku Lwokubiri, Muntu we yakitegeeredde nti lipoota yabadde yasomoddwa nga byonna ebigirimu aba Besigye ne Amuriat babimanyi era tebaamulinze kwanja lipoota ne bamugamba nti ddembe lye okugenda.

Muntu yabadde akyasobeddwa ate ekiwandiiko ekyabadde kirina okufulumizibwa ng’olukiiko lumaze kuggwa, ate omuyambi wa Muntu n’akissa ku mukutu gwa Facebook ya Muntu ng’alangirira nti avudde mu FDC.

ANI YASINDISE ABAVUBUKA ABAALUMBYE OLUKIIKO

Baabadde bakyali kw’ebyo, ate ebbiina ly’abavubuka abagambibwa okubeera abawagizi ba Besigye ne balumba ku Fairway okuggyawo Amuriat mu ngeri yeemu nga Besigye bwe yaggyibwa mu lukuhhaana lwa TDA mu 2015.

Abavubuka baabadde bagamba nti olukiiko lulina kubeera Najjanankumbi era Amuriat mu kubakkakkanya n’abategeeza nti tewali kigenda kusalwawo mu lukiiko olwo; ensonga z’ekibiina zaakusalirwawo Najjanankumbi.

Wabula Mubarak Munyagwa, omu ku baabadde mu lukiiko ng’ali ku ludda lwa Amuriat yalumirizza omubaka wa Makindye East Ibrahim Kasozi nti ye yapangisizza abavubuka abo okutabangula olukiiko.

Kasozi bamwogerako ng’ali ku ludda lwa Muntu. Kyokka eggulo Kasozi yategeezezza Bukedde nti talina ky’amanyi ku bavubuka abo; n’agattako nti ky’amanyi kiri kimu nti abavubuka abo bali mu nkambi ya Amuriat.

Omu ku bavubuka abo ayitibwa Meddie Musisi atwalibwa ng’omu ku bayambi ba Besigye.

Kasozi era yabuuzizza nti bwe kiba ng’abavubuka abo ye yabadde abapangisizza, ate kyazze kitya Amuriat okubakkakkanya ne bamuwuliriza era ne bagumbulukuka nga bwe yabagambye!

Oluvannyuma Muntu yeetondedde Amuriat ku kiwandiiko ekyafulumye nga n’olukiiko terunnaggwa era n’aggumiza ebyabadde mu kiwandiiko nti ayabulidde FDC kyokka n’asuubiza okulaga ekiddako mu lukiik

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabakafitri1 220x290

Kabaka ayagalizza Abasiraamu Idd...

KABAKA Ronald Muwenda II alagidde Bannayuganda okukuuma emirembe n’okusonyiwagana mu kiseera kino ng’Abasiraamu...

Mknded4 220x290

Famire eziyiridde mu nnyumba nga...

Abasiraamu mu kibuga ky’e Mukono baaguddemu encukwe ku Iddi munnaabwe eyabadde akedde ku maliiri okufumba emmere...

Mknmm3 220x290

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa...

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa Mukono ng’alina Corona virus-atwaliddwa mu kalantiini n’abalala babiri be...

Ssaavasennyonga 220x290

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere...

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere ya bukadde 300 okudduukirira abali ku muggalo

Lockdown309 220x290

Eyali awola ssente azzeeyo mu nnimiro...

ENSWA bw'ekyusa amaaso naawe ng'envubo okyusa ne Charles Tamale envubo agikyusirizza mu nkumbi okubaako ettofaali...