TOP

Bakutteyo abalala 2 ku by'okutta Kirumira

By Musasi wa Bukedde

Added 27th September 2018

OMUWENDO gw’abaakakwatibwa ku by’okutta Afande Muhammad Kirumira gulinnye abanoonyereza bwe bategeezezza nti kati balina abantu musanvu mu kaduukulu k’amagye e Makindye.

Kirumiranew10 703x422

Omugenzi Kirumira Muhammad

Kiddiridde okukwatayo abalala babiri ku bigambibwa nti bamanyi ku ttemu lino.

Okunoonyereza kuno okulimu ebitongole okuli CMI, Poliisi ne ISO era kulaga ng’abantu musanvu be baakakwatibwa okusobola okuyambako mu kunoonyereza mu kuzuula abazigu b’emmundu abagambibwa okutta Kirumira bwe baamukuba amasasi ng’ali mu mmotoka ne mukwano gwe Resty Nalinya.

Ku Lwomukaaga ebitongole ebiri mu kunoonyereza ku musango guno byatuula ne bibaako ensonga ze byakkaanyaako omuli okuwaanyisiganya ebituukiddwaako mu kunoonyereza okwakakolebwaawo omuli okuwanyisiganya abakwatiddwa okusobola okwongera okubaako bye babuuzibwa eby’enjawulo.

Wabula mu kunoonyereza kuno poliisi ekyalemeddwa okubaako abantu beekwata nga kigambibwa nti yo eri mu kulondoola amawulire abantu ab’enjawulo ge bagitwalidde nga yeewala okukola ensobi ezizze zikolebwa mu misango egy’enjawulo mwe bakwatidde abantu ne balemwa okubaggulako emisango gy’okutta abantu.

Abantu abaakakwatibwa ku musango gw’okutta Kirumira bonna CMI yeebakwata era nga yasoose kubakuumira ku kitebe kyayo e Mbuya oluvannyuma ne baggyibwayo ne batwalibwa mu kkomera lya Miritale e Makindye ate yo ISO ng’obuvunaanyizibwa bwayo bwakukuhhaanya mawulire n’okugasensula.

Embeera y’okukwata abaserikale okuli Ismael Ssenono ne Deus Byaruhanga ng’ono abadde avuga mmotoka za Flying Squad eyongedde okweraliikiriza abaserikale abalala naddala abakolera mu Flying Squad nga batya nti bandiyungibwako eby’okutta Kirumira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lap2 220x290

Owoomuluka awerennemba na gwa ttaka...

Owoomuluka awerennemba na gwa ttaka

Siralexferguson1132188 220x290

Aba ManU bampisaamu amaaso - Sir...

EYALI omutendesi wa ManU, Sir Alex Ferguson ayogedde ku mbeera eyali ttiimu ye gy'erimu n'agamba nti ekwasa ennaku....

Lop2 220x290

Bakasukidde ab’e Ntinda ebintu...

Bakasukidde ab’e Ntinda ebintu

Jogo 220x290

Engeri Valencia gye yakomezza ejjoogo...

EJJOOGO Barcelona ly'ebadde eyolesa mu mpaka za Copa del Rey, Valencia yalimazeewo bwe yagikubye ggoolo 2-1 ku...

Tip3 220x290

Bajjukidde lwe baalumba Olubiri...

Bajjukidde lwe baalumba Olubiri ne basabira Obwakabaka