TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssaabalabirizi Ntagali awagidde eky'okuwa aba Ghetto ssente

Ssaabalabirizi Ntagali awagidde eky'okuwa aba Ghetto ssente

By Musasi wa Bukedde

Added 27th September 2018

SSAABALABIRIZI w’ekkanisa ya Uganda, Stanley Ntagali awagidde ekya Gavumenti okuwa abavubuka b’omu Ghetto ensimbi, nti kino kya kukyusa ku mbeera z’obulamu bwabwe.

Ntagali703422 703x422

Ssaabalabirizi Ntagali

Ssaabalabirizi Ntagali yategeezezza nti abavubuka bangi mu ggwanga baasoma naye tebalina mirimu olw’okubulwa entandikwa ekireetedde abamu okwekyawa ne bakola ebintu ebitagasa.

Ono yagambye nti Gavumenti kye yakoze kirungi, kati abavubuka bagenda kuva mu bumenyi bw’amateeka omuli obubbi, obutemu n’ebirala basobole okwetandikirawo eky’okukola.

Okwogera bino, Ssaabalabirizi yabadde mu lukuhhaana lwa bannamawulire olwatuuziddwa ku kitebe ky’ekkanisa ya Uganda e Namirembe okwanjula enteekateeka ya UCU-Sunday egenda okubeerawo nga September 30, 2018 mu kkanisa za Uganda ez’enjawulo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...