TOP

Ssekandi asiimye Abachina okulaakulaanya Uganda

By Martin Ndijjo

Added 27th September 2018

omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Ssekandi asiimye Abachina okulaakulaanya Uganda nga baajaguza amefuga.

Chi1 703x422

Zheng Zhu Qiang ne Ssekandi nga basala keeki

OMUMYUKA wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Ssekandi asiimye Abachina abali kuno agamba enkolagana enungi eriwo wakati wa Uganda ne China yakwongera okuvaamu ebibala naddala eby’enkulaakulaana.

Ssekandi yategezezza nti enkolagana n'omukwano wakati wa Uganda ne China byava dda nga Uganda yeetegeka kwefuga era guzez gweyongera.

Yawadde eby’okulabirako eby’enjawulo okuli; oluguudo lwa Entebbe Expressway, ebbibiro ly'amasannyalaze ery'e Karuma ne Isimba, amakolero ssako obuyambi obulala by’agamba nti byonna bibala ebivudde mu nkolagana eno

 li irunda ivejinja ku kkono omumyuka wa katikkiro wa ganda owokubiri ne ohn yabagambi Ali Kirunda Kivejinja (ku kkono) omumyuka wa katikkiro wa Uganda ow'okubiri ne John Byabagambi

 

Bino yabyogeredde ku Serena ku mukolo Abachina abali kuno kwe bajjagulizza emyaka 69 bukya nsi yabwe efuna bwetwazze. 

Ssekandi eyabadde omugenyi omukulu yabasabye okwongera okutumbula n’okwenyigira mu bintu ebirala nga eby’emizannyo, eby’obulambuzi n’ebirala  n’okutumbula

Ono era yayogedde ne lukuηηaana lw’ebyobusuubuzi olwakagwa wakati wa China ne Afrika oluyitibwa Forum on China-Africa Cooperation (FOCAC), Pulezidenti Museveni mwe yasisinkanidde Pulezidenti Xi Jinping owa China ne babako ebintu ebyenjawuulo bye bakiriziganyiza okukola era agamba Uganda muno egenda kufunamu.

 ababaka bamawanga amalala mu ganda nabbo babaddeyo ku mukolo guno ababaka b'amawanga amalala mu Uganda nabbo babaddeyo ku mukolo guno

 

Ye Zheng Zhu Qiang omubaka wa China mu Uganda mu kwogera yasiimye Bannayuganda bagamba nti balaze omukwano eri Abachina era bafuddeyo okubayigirako bingi bye batadde mu nkola.

yawadde eky'okulabirako abasawo Rose Kawuma ne Jesca Namugoya abakolera mu ddwaaliro lya Jinja Regional Referral Hospital b’agamba nti beyambisa enkola y'Abachina ey'okujjanjaba abantu abali mu bulumi obw'amaanyi okujjanjaba abantu naddala abakuliridde mu myaka abagenda mu ddwaaliro lino.

 bamu ku achina ababadde ku mukolo Abamu ku Bachina ababadde ku mukolo

 

Yagasseko nti nga China neetegefu okwogera okukolagana ne Uganda ssaako n’amawanga ga Afrika amalala mu by’enkulaakulaana awatali kukakibwa n’okweyingiza mu nsonga zabwe ez’ebyobufuzi n’ez’omunda mu ggwanga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.