TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ababundabunda mu nkambi y'e Parolinya - Moyo babawadde solar

Ababundabunda mu nkambi y'e Parolinya - Moyo babawadde solar

By Musasi wa Bukedde

Added 28th September 2018

ABABUNDABUNDA okuva mu ggwanga lya Sudan abali mu nkambi ya Parolinya mu distulikiti y'e Moyo balabuddwa obutaddamu kutema miti nga banoonya enku kisobole okukendeeza ku kyeya mu kitundu kino.

Kimbugwesolar3 703x422

Omulangira Kimbugwe ng'akwasa ababundabunda solar

BYA JUDITH NALUGWA

Okulabula kuno kukoleddwa omulangira Edward Kimbugwe owa 'Prince Kimbugwe Foundation' bw'abadde abatonera solar ezeeyambisibwa mu kufumba n'amaanyi g'enjuba wamu n'obugaali.

'' Ebitundu by'omu mambuka ga Uganda bye bimu ku bisinga okubaamu ekyeya kyokka ate abantu ababeerayo omulimu gwe basinga okwettanira kwe kutema emiti  okwokya amanda n'enku, kye tuvudde tuvaayo ffe ng'aba Prince Kimbugwe Foundation nga tuyambibwako aba EG Solar okuva e German okudduukirira abantu bano ne solar ez'okufumbisa n'amanyi g'enjuba.

Omulangira Kimbugwe agambye nti batandiise ne Solar 50 nga zino ziweereddwa ab'enkambi ya Palorinya erimu abantu abawerera ddala 123 nga bano beekozemu ebibinja okusobola okukozesa awamu solar ezibaweereddwa.

Omukwanaganya wa pulojekiti egaba solar bicycle sponsorship project and workshop uganda, Edward Kyambadde ategeezezza nti enkambi z'ababundabunda zonna eziri mu bukiika ddyo zaakuganyulwa mu nteekateeka eno nga baakuzzaako ey'e Bidbidi esingamu abanoonyi b'obubudamu abasukka mu kakadde.

Omulangira Kimbugwe asiimye abaabawadde solar zino okuva e Germany mu kaweefube gwe bakoze okutaasa obutonde bw'ensi era n'abasaba okwongeza okuwagira basobole okubunyisa enkola eno mu ggwanga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sev3 220x290

Museveni agguddewo olusirika lwa...

Museveni agguddewo olusirika lwa NRM

Kab2 220x290

Ababadde bazze okupima ettaka emmotoka...

Ababadde bazze okupima ettaka emmotoka yaabwe bagikumyeko omuliro

Lab2 220x290

Kirya yeesozze "quarter" za Uganda...

Kirya yeesozze "quarter" za Uganda Cup n'okontola

Pop1 220x290

Okusunsula abayizi abagenda mu...

Okusunsula abayizi abagenda mu S5 kuwedde

Lop2 220x290

Ababbi balumbye ebyalo abatuuze...

Ababbi balumbye ebyalo abatuuze ne battako omu