TOP

Buli ayingira mu Mbuutu y’Embuutikizi ajja kuvaayo n’ebirabo.

By Martin Ndijjo

Added 28th September 2018

Ekivvulu ky'Embuutu Y’Embuutikizi kyongeddwaamu ebinnonoggo. Buli ayingira ajja kuvaayo n’ebirabo mu ngalo ate waliyo n’omukisa okulinnya mu nnyonyi okulambula ekibuga Kampala

Mbu1 703x422

Herbert Yawe Kabanda (ku kkono) Atweta, Tumwesigye, Seruyinggo Nabuuma, Kazibwe Kayibanda ne Kaddu

“Buli ayingira mu Mbuutu y’Embuutikizi Kalakata ajja kuvaayo n’ebirabo mu ngalo ate olina n’omukisa okulinnya mu nnyonyi okulambula ekibuga Kampala”

Bwatyo Herbert Yawe Kabanda akulira Bukedde Fa Ma 100.5 ne 106. 8 e Masaka ne 96.6 e Mbarara.bwatandise ng’ayogera ku binnonnoggo ebiri mu kivvulu kya leediyo eno ekitegekeddwa nga October 28, 2018 mu kisaawe e Wankulukuku okujjaguza emyaka 10 ejja Bukede Fa Ma ng’ebuutikidde leediyo enddala mu ggwanga era akunze abantu okubaayo mu bungi okuyingira 10,000/=.

Abateesiteesi n’abakitaddemu ssente okuli; aba Prestige Margarine, Jomay Properties, Uganda Breweries abasogola Bell, Peps Cola, Movit  Producrs Ltd wamu ne MTN leero bakung’aanide ku kitebe kya Vision Group efulumya ne Bukedde ne bannyonnyola engeri gye bagenda okusanyusaamu abadigize n’ebirabo bye bagenda okugaba.

Yasin Kazibwe owa Prestige Margarine,  Emmanuel Atweta owa Pepsi, John Tumwesigye owa Movit ne Brian Seruyinggo owa UBL bategezezza nti ng’ogyeko okutunda ebyamaguzi byabwe ku bbeeyi laayisi ku lunaku olwo,

okugeza ccuupa ya Bell ku 3,000/- ate bw’ogula Bell satu (3) bakuwa emu ya bwerere ate gwe alina 10,000/- bakuwa ccupa nnya,  buli kkampuni egenda kugabira bakasitoma baayo ebirabo.

 abamu ku batadde ssente mu kivvulu kymbuutu ymbuutikizi abamu ku batadde ssente mu kivvulu ky'Embuutu y'Embuutikizi

 

Ye Joweria Nabuuma avunanyizibwa ku bivvulu bya Vision Group, ategeezezza nga bwe bataddewo omukisa abantu okwewangulira ssente ng’omuntu wakulinya ku siteegi annyole ekyuma akasaze we kiyimirira ze ssente z’owangula

Agasseko nga eby’okwerinda bwe bigenda okuba eby’amaanyi okutangira abamenyi b’amateeka era abayimbi abasoba mu 30 be bagenda okusanyusa abantu ate waliyo n’empaka z’abayimbi abato bayite abapya anasinga aweebwe akakadde ka ssente.

               Fayinolo y’ekigwo

Mu kivvulu kino era mutegekeddwamu ne fayinolo y’ekigwo ggumbya.

Abamegganyi  abaayiseemu okuva mu bitundu eby’enjawulo ku lunaku luno we bagenda okwegera eryanyi okufunako omuwanguzi w'omwaka guno era  Yasin Kaddu owa Jomayi ategezezza nti omuwanguzi bagenda kumuwa ekyapa ky'ettaka 100x 50 bamugattireko  akakadde kamu aka ssente ne ggaali maanyi ga kifuba ssaako ebirabo ebirala okuva mu ba Prestige Margarine.

              Embuutu y’Embuutikizi etwaliddwa mu bantu

Kabanda era ategezezza nga bwe bagenda okukola ky’oyinza okuyita obusiki bw’Embuutu y’Embuutikizi obugenda okutambuzibwa mu bitundu eby’enjawulo okuli; obutale n’amabbaala okwongera okunyikiza ensonga.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.