TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Palamenti eremeddwa okuyisa etteeka ku musolo gwa 'mobile money'

Palamenti eremeddwa okuyisa etteeka ku musolo gwa 'mobile money'

By Muwanga Kakooza

Added 28th September 2018

PALAMENTI eremeddwa okusalawo eky’enkomerero ku ky’okukendeeza oba okuggyirawo ddala omusolo ku ‘mobayiro mane’ ng’entabwe evudde ku muwendo gw’ababaka beetaagisa kusalawo ku nsonga eno butawera.

Mobilemoney 703x422

Ebbago ly’etteeka eryogerwko lya ‘’The Excise Duty (Amendment) Bill, 2018’’ lyazzibwa mu palamenti okulongoosebwa nga Pulezidenti Museveni ayagala omusolo oguggyibwa ku baggyayo ssente ku ssimu (mobayiro mane) gukendeezebwe  okuva ku bitundu 1% gudde ku 0.5%.

Kino kyaddirira abantu okwemulugunya nti omusolo ogw’ebitundu 1% ku ssente eziyitira ku ssimu (mobile money) mungi. Era nga guggyibwa ku bassaayo ssente n’abaggyayo ekitali kya bwenkanya.

Pulezidenti wadde etteeka yali alitaddeko omukono kyokka yakkiriza nti kyakolebwa mu nsobi n’aliddiza palamenti ng’agamba ayagala omusolo gukendeera gudde 0.5% ng’ate guggyibwa ku baggyayo ssente bokka.

Minisita w’eggwanga ow’ebyensimbi, David Bahati yagamba nti omusolo guno gugenda kuvaamu obuwumbi 115.

Akakiiko ka palamenti ak’ebyensimbi mu lipooti yaako ku bbago ery’okulongoosa etteeka ku ‘mobayiro mane’ kaagambye nti omusolo gw’ebitundu 1% gwataputibwa kifuulannenge n’abassa ssente ku ‘mobayiro mane’  ne batuuka okuwoozebwako ssente ekitali kituufu.

Wabula waliwo ababaka ab’olubatu ku kakiiko k’ebyensimbi abaabadde baagala omusolo ku ‘mobayiro mane’ guviirewo ddala. Kyokka palamenti yalemeddwa okusalawo eky’enkomerero ku ky’okuggyawo oba okukendeeza omusolo ku ‘mobayiro mane’ ng’omuwendo gw’ababaka ogwetaagisa okugenda maaso okusalawo teguwera.

Baabaddewo97 ng’ate abeetagisa bandibadde 154. Ensonga palamenti ejja kuziddira ku Lwakubiri lwa wiiki ejja.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabakafitri1 220x290

Kabaka ayagalizza Abasiraamu Idd...

KABAKA Ronald Muwenda II alagidde Bannayuganda okukuuma emirembe n’okusonyiwagana mu kiseera kino ng’Abasiraamu...

Mknded4 220x290

Famire eziyiridde mu nnyumba nga...

Abasiraamu mu kibuga ky’e Mukono baaguddemu encukwe ku Iddi munnaabwe eyabadde akedde ku maliiri okufumba emmere...

Mknmm3 220x290

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa...

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa Mukono ng’alina Corona virus-atwaliddwa mu kalantiini n’abalala babiri be...

Ssaavasennyonga 220x290

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere...

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere ya bukadde 300 okudduukirira abali ku muggalo

Lockdown309 220x290

Eyali awola ssente azzeeyo mu nnimiro...

ENSWA bw'ekyusa amaaso naawe ng'envubo okyusa ne Charles Tamale envubo agikyusirizza mu nkumbi okubaako ettofaali...