TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri amyuka omwogezi wa Poliisi gye yasimattuse ab'emmundu abattira ku boda

Engeri amyuka omwogezi wa Poliisi gye yasimattuse ab'emmundu abattira ku boda

By Musasi wa Bukedde

Added 29th September 2018

OFIISA wa poliisi bwe yalabye abatemu b’emmundu abattira ku pikipiki nga bamusazeeko, kwe kuwalampa ekikomera ky’omugagga n’agwa munda- bwatyo n’awonera watono okuttibwa.

Buk 703x422

Onyango

Superintendent of Police (SP) Patrick Onyango okuwona abatemu zaabadde essaawa nga 4:00 ez’ekiro ky’Olwokuna e Kireka - Kamuli ku lw’e Jinja , mu Kabaawo Zooni. Bwe yagudde mu kikomera yanuubuse amaviivi n’okufuna ebisago ebirala.

Bino biguddewo nga waakayita ennaku 20 zokka bukya batemu be bamu abatambulira ku pikipiki batta Muhammad Kirumira ne mukwano gwe Resty Nalinnya Mbabazi e Bulenga nga September 8. Onyango ye ofiisa wa poliisi owookubiri okusimattuka abatemu bano.

Omulala ye ACP Herbert Muhangi eyali akulira Flying Squad gwe baagoba okuva e Kamwokya kyokka emmotoka n’agisuula e Nakawa n’adduka. Bino byaliwo ku ntandikwa y’omwaka guno.

Abantu abatutumufu abattiddwa abatemu bano kuliko; Andrew Felix Kaweesi eyattibwa nga March 17, 2017; Joan Kagezi, Muhammad Kiggundu eyali bba wa Maama Fiina, Sheikh Hassan Kirya, Sheikh Mustapha Bahiiga n’abalala.

Bukedde eggulo yayogedde ne Onyango n’ategeeza nti yasimattuse n’ebisago ebitonotono era yatwaliddwa mu ddwaaliro n’ajjanjabibwa n’asiibulwa era ku Lwokutaano yakedde kukola mirimu gye.

Kirowoozebwa ng’ekyamuwonyezza kwe kusalawo okuleka emmotoka ye n’atambulira ku pikipiki. Era kirabika abatemu baategedde ng’akozesezza pikipiki kyokka ekyayambye kwe kuba nga mu budde we baayagalidde okutemula Onyango waabaddewo pikipiki nnyingi ezisaabaza abantu.

Baagenze okwetegereza okuli Onyango nga naye abategedde kye yavudde asobola okubatebuka.

Onyango yasimbudde Wankulukuku awaabadde okusunsula abanaatekebwa mu ba LDU.

Yajjidde ku pikipiki ya bodaboda, kyokka bwe yabadde anaatera okutuuka e Kireka, kwe kwekengera pikipiki bbiri ezimuvaako emabega. Abazigu abaabadde bambadde ebikooti.

Onyango yatidde kyokka n’aguma. Bwe yawese mu kkubo eriva e Kireka okugenda munda mu Kabaawo Zooni, pikipiki nazo ne ziweta okumugoberera.

Kyokka yabadde atuuka ku ssomero lya St. Gonzaga e Kamuli ne yeeyongera okutya kubanga waabaddewo enzikiza.

Pikipiki eyabadde etwala Onyango yabadde eweta ekkoona, wano we yabuukiddeko n’adduka ng’ayolekedde ekikomera ekiriraanyewo kye yawalampye n’agwa munda.

Ng’ali munda, yakubidde atwala poliisi y’e Kireka, Nicholas Muyonjo, essimu n’amuweereza kabangali ya poliisi ennawunyi eyabaddeko abaserikale abaagenze okumuyamba ne bamutwala mu ddwaaliro.

Eyo gye baamuggye ne bamuzza ewuwe. Kyokka ebyaddiridde ku wa bodaboda n’abaabadde bagoberera teyabitegedde.

Kyokka abatuuze baagambye nti pikipiki zaayimiridde era abaazibaddeko baabalabye nga baambadde ebikooti kyokka waayiseewo akaseera akatono ne baziweta ne baddayo emabega gye baavudde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Wali muyigiriza ow'ekisa

Wali muyigiriza ow'ekisa

Lip2 220x290

Okufa kwa Namirimu kwatufumise...

Okufa kwa Namirimu kwatufumise nga ffumu

Tip2 220x290

Bannange nze siri mulogo ebyawongo...

Bannange nze siri mulogo ebyawongo bye bintawaanya

Kid2 220x290

Ono muzeeyi omwenge aguyodde nga...

Ono muzeeyi omwenge aguyodde nga bijanjaalo

Got2 220x290

Abasuubuzi mu katale k’e Kitintale...

Abasuubuzi mu katale k’e Kitintale bali ku bunkenke