TOP

Gwe baasanze abaaga enkima asattizza ekyalo

By Musasi wa Bukedde

Added 30th September 2018

ABATUUZE ku kyalo Lwemwedde mu Ggombolola y’e Masuulita mu Wakiso basattira. Balina mutuuze munnaabwe gwe baasanze ng’abaaga enkima.

Kwata 703x422

Abatera okugula obunyama bw’oku kkubo olumulabyeko ne batema emiranga nga bagamba nti bandifuna ekirwadde kya Ebola.

Joseph Kalyamuto ye yakwatiddwa era mu kwekangabiriza yabategeezezza nti asala nnyama ye akooye okulya amaluma kyokka abamu ne balowooza nti alina abatunda omucomo baagiguza.

Yabakambuwalidde n’ayagala n’okubakuba ng’agamba nti beeyingiza mu bintu ebitabakwatako.

George Wiliam Mutyaba omu ku batuuze yategeezezza nti ekitundu kyabwe kyetoolooddwa ebibira ebirimu ebisolo ng’abantu babiyigga ne babirya.

Akulira ebyobulamu mu Nansana, Robert Kagwire yagambye nti bagenda kunoonyereza ekituufu basomese n’abantu akabi akali mu kuliraana ebisolo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab1 220x290

Gavumenti efulumizza ebiragiro...

Gavumenti efulumizza ebiragiro ebipya ng'emizannyo gizzeemu

Kat1 220x290

‘Teri kukyusa’

‘Teri kukyusa’

Tip1 220x290

Admin FC eyagala Big League

Admin FC eyagala Big League

Byekwaso 220x290

Byekwaso w'emifumbi ateekateeka...

KAFULU wa Uganda mu muzannyo gw’okusiba emifumbi ali mu keetalo nga yeetegekera okugattibwa mu bufumbo obutukuvu...

Tip1 220x290

Omusajja anzigyako abaana

Omusajja anzigyako abaana