TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abooludda oluvuganya mudda mutya mu gundi oli mbega ng’obuyinza bugenda?

Abooludda oluvuganya mudda mutya mu gundi oli mbega ng’obuyinza bugenda?

By Musasi wa Bukedde

Added 30th September 2018

OMUKAZI Nakku eyaloga aba Opozisoni mu Uganda engoye akyaziwanise waggulu! Agamba nti akyabaloga okutuusa ng’abaleseemu kasala kkubo nga bamaze n’okutegeera nti basobola okuwangula entebe.

Muntu6 703x422

Maj. Gen. Mugish Muntu eyavudde mu FDC

Nakku abangi gwe babadde balowooza nti eby’okuloga aba Opozisoni yabivuddeko oluvannyuma lw’omuvubuka embulakalevu owa ‘People Power’ okuyingirawo n’ayuugumya ekisaawe ky’ebyobufuzi okumala akabanga, ate by’abasobedde ku ntandikwa ya wiiki eno bwazzeemu okufungula embugo n’azitikka ku mutwe.

Byatandise ng’eby’olusaago nti munnamagye Mugisha Muntu akooye okumulinnyirira era avudde mu mujaasi munne Dr. Kiiza Besigye n’amulekera ekibiina kya FDC. Wiiki gy’ewunzikidde ng’ebyolusaago mazima mereere anti Mugisha Muntu yawanze muliro obudde ne budda ku bunnaabwo.

Yagambye nti agumiikirizza enkwe n’effutwa lya Besigye ne banne okumala emyaka kkumi kati k’abaviire FDC ekonzibire ddala mu nkwe n’obutaagaliza bwayo. Genero Muntu yagambye nti kye kiseera atandike ekibiina ekikye aviire abasajja n’abakazi abajjudde ekko ku mitima n’obutaagaliza.

Joyce Nabbosa Sebuggwawo ne Salaam Musumba abakazi bannabyabufuzi ab’embazuulu mu kibiina kya FDC, tebaalinze bigambo bya Mugisha Muntu ebyabadde bisala ng’akambe akoogi kukkalira mu bawagizi ba Opozisoni nabo ne basitula enkundi.

Baalangidde Genero Muntu okuba n’enkwe okweyagaliza n’okuleeta ba mbega mu kibiina kyabwe n’akifungalaza.

Baamugambye nti bamaze ebbanga nga bamumanyi abaliira munda nga musege nti naye Katonda abayambye n’abaviira.

Muntu naye teyabatalizza n’abajjukiza nti bamuyeeya okuba mbega naye k’abaviiridde, bagenda kulaba mbega omutuufu yennyini mu FDC era baakugwawo n’ekigwo.

Ensi ng’enaagwa eddalu, bannabyabufuzi abalina okukolera awamu okwegatta balwanyise gwe bayita omulabe n’okutuuka ku bigendererwa byabwe babivaako olwo buli omu n’atandika okwefaako yekka.

Beerabira n’engombo z’ebibiina byabwe gamba nga ogwa FDC ogwa “One Uganda, One People” ne beeteerawo ezaabwe ez’okweyagaliza.

Ensi egwiira ddala eddalu abakulembeze bwe batandika okwerangira okuba bambega n’okulya mu lulime ne mu luzise mu lujjudde nga beerabidde nti bye bakola n’abalonzi ate bye bakola olwo ne batemaatema eggwanga okulimalawo.

Beerabirira ddala engero za bajjajjaffe nti ‘Agali awamu’ ne batandika kuwoza ‘obutono bulwanira mu ssanja’.

Naye nga ssanja ki mw’oyinza okulwanira okumegga omusajja amaze ebbanga nga yenyweza n’ensimbi alina n’emyaka akulungudde egimala mu ntebe obumanyirivu kw’atudde.

Aba Opozisoni ababadde batandise okufuna olungubanguba nga n’abamu batandise okukuba jjejjerebu nti ‘‘ekintu tukimusuuze mu 2021’’ laba ate bwe bazzeeyo mu kwesongamu ennwe nti gundi tuviire oli mbega!

Naye abaffe, katugambe nti Genero Muntu abadde mbega nga bwe mugamba, emyaka 13 n’omusobyo gy’amaze mu FDC bw’aba abadde ababega mukyasigazzaawo ki?

Jjuuzi mwamulonda n’ekibiina n’akikulembera okumala ebbanga, kati ebyama ne pulaani teyazitunda dda n’azimalawo, awo Patrick Oboi Amuriat ali mu nkasi takuuma lubugo nga lubaale mubbe! Muleke kulimba bagundi, Muntu taabeere mbega naye waliwo nsonga ndala eyabatabudde.

Naye okumanya Nakku akyesomye, teyakomye ku ba Opozisoni n’alumba n’aba NRM n’abasuula eddalu.

Yabasanze mu lukiiko lwa Palamenti nga bateesa ku musolo gwa Mobile money. Ababaka ba NRM abakimanyi obulungi nti omusolo gunyigirizza abantu baatidde okunyiiza mukama waabwe akulira ekibiina era okuteesa bwe kwatuuse ne badduka mu lukiiko ne baleka omumyuka wa Sipiika Jacob Oulanya ng’atunula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab1 220x290

Gavumenti efulumizza ebiragiro...

Gavumenti efulumizza ebiragiro ebipya ng'emizannyo gizzeemu

Kat1 220x290

‘Teri kukyusa’

‘Teri kukyusa’

Tip1 220x290

Admin FC eyagala Big League

Admin FC eyagala Big League

Byekwaso 220x290

Byekwaso w'emifumbi ateekateeka...

KAFULU wa Uganda mu muzannyo gw’okusiba emifumbi ali mu keetalo nga yeetegekera okugattibwa mu bufumbo obutukuvu...

Tip1 220x290

Omusajja anzigyako abaana

Omusajja anzigyako abaana