TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kayihura bamulumirizza ku mivuyo gy'okulinnyisa abaserikale 100 amadaala

Kayihura bamulumirizza ku mivuyo gy'okulinnyisa abaserikale 100 amadaala

By Musasi wa Bukedde

Added 30th September 2018

EYALI omuduumizi wa poliisi Gen. Kale Kayihura bamulumirizza nti yeetaba mu kulinnyisa amadaala g’abaserikale ba poliisi 100 mu ngeri etaagoberera amateeka.

Kuba 703x422

Gen. Kale Kayihura

Okunoonyereza kuzudde nti Pulezidenti Museveni bwe yalagira abaserikale ba poliisi abamu balinnyisibwe amadaala nga Febuary 4 , 2015 waaliwo amannya g’abaserikale agaakukusibwa ne gassibwa ku lukalala olwo nga tebasaanidde  ng’abamu baalina emisango, abalala nga balina ebiwandiiko by’obuyigirize ebijingirire, abamu ne babuusibwa amadaala  n’abandi nga baali baakamala okukuzibwa nga tewannayita wadde emyezi ebiri.

Okusinziira ku kunoonyereza okwakoleddwa Kaliisoliiso wa gavumenti, Irene Mulyagonja abaserikale bangi baalinnyisibwa amadaala mu ngeri y’ekimpatiira.

‘’ Ku bapoliisi  102 abaakuzibwa, 40 baabusibwa eddaala limu, 62 baalinyisibwa eddaala ne baweebwe eddala nga tebannaweza myaka esatu nga bamaze okukuzibwa nga kino kikontana n’amateeka agafuga poliisi agassibwawo mu mwaka 2010,’’ Mulyagonja bwe yategeezezza mu lipooti eyabaddeko ennaku z’omwezi Sepetember 10.

Era nti Kayihura bino yabikkiriza wadde byali bikontana n’amateeka  ng’agamba nti abaakuzibwa baali basaanidde kuba baali bakoze bulungi emirimu mu poliisi.

Mu nkola eno abapoliisi bataano baakuzibwa okutuuka ku ddaala AISP nga lino ddaala lyakusatu okuva waggulu mu poliisi, 19 baafuulibwa ba SCP, 13 ne bafuulibwa ba CP,30 baafulibwa  ACP, 52 ne bafuuka ba SSP ate 65 ne bafuulibwa SP. Era oluvannyuma lw’okussibwako ennyota waliwo abeemulugunyizza Kaliisoliiso wa gavumenti n’atandika okubuuliriza.

Ensonda zaategeezezza nti IGG yawabudde abaddukanya poliisi ennaku zino bakangavvule abaserikale abaakuzibwa nga bawaddeyo ebiwandiiko by’obuyigirize ebifu.

Abaserikale 36 baakuzibwa wadde tebaali ku lukalala lw’abalina kukuzibwa. Era Mulyagonja ayagala abaserikale munaana  abaakuzibwa nga balina emisango nabo ennyota zibaggyibweko

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono