TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi ebuuliriza ku bulumbaganyi obwakoleddwa ku mumyuka w'omwogezi waayo

Poliisi ebuuliriza ku bulumbaganyi obwakoleddwa ku mumyuka w'omwogezi waayo

By Musasi wa Bukedde

Added 30th September 2018

POLIISI etandise okunoonyereza ku bateberezebwa okuba abazigu abaabadde batambulira ku pikipiki abagambibwa nti baabadde baagala kutuusa bulabe ku mumyuka w’omwogezi wa poliisi Patrick Onyango e Kireka ku lw’e Jinja.

Onyango 703x422

Onyango eyasimattuse abazigu

POLIISI etandise okunoonyereza ku bateberezebwa okuba abazigu b'emmundu abaabadde batambulira ku pikipiki abagambibwa nti baabadde baagala kutuusa bulabe ku mumyuka w’omwogezi wa poliisi Patrick Onyango e Kireka ku lw’e Jinja.

Bino byabadde Kireka ku ssaawa 3:300 (satu n’ekitundu) ez’ekiro  Onyango bwe yabadde  adda ewuwe  ne yekengeera  abasajja abaabadde batambulira ku bodaboda bbiri.

Ekyavuddeko obulumbaganyi buno kyabadde tekibategerebwa  kyokka poliisi etandise okunoonyereza. Omusango yaguwaabye ku poliisi e Kireka.

Ekigendererwa ky’abasajja bano tekinategerebwa kyokka Onyango ensonga yaziroopye ku poliisi e Kireka . Era n’atwala bambega mu kifo bino webyabadde n’abannyonnyola era poliisi n’etanikirawo okubuuliriza.

Omwogezi wa poliisi Emirian Kayima yagambye nti Onyango bwe yabadde adda eka ku ssaawa 3:30  neyekengera bodaboda bbiri ezaabadde zimugoberera ng’asuubira zaagala kumutusaako bulabe.

Era n’akyusa obukodyo bw’etambula ye  n’ayita poliisi n’eyingira mu nsonga n’emuwerekera okumutuusa awaka.

Kayima yebazizza poliisi olw’obwangu n’asaba abaserikale babe bulindaala ekiseera kyonna.

Bino we biggyidde ng’omwezi tegunnayita  ng’eyali omuduumizi wa poliisi e Buyende, Afande Muhammed Kirumira atemuddwa ng’adda ewuwe e Bulenga.

Yatemulwa n’omukyala eyali mu mmotoka eno, Resty Mbabazi Nnalinnya. Kirumira yali aludde nga yeemulugunya nti waliwo abaagala okumutta.

Nga March 17 omwaka oguwedde, eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi yatemulwa abazigu era abaali batambulira ku bodaboda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kip2 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okufuna mu kulima Levander

Pap2 220x290

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula...

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula

Top2 220x290

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo...

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo bakwate

Tip2 220x290

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi...

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi wa muliraanwa

Lab2 220x290

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo...

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo kya nte