TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi esabiddwa okukuuma emirembe ng’abayizi bakola ebya UNEB

Poliisi esabiddwa okukuuma emirembe ng’abayizi bakola ebya UNEB

By Henry Nsubuga

Added 30th September 2018

Akulira eby’enjigiriza mu ssaza lya Klezia ery’e Lugazi Rev. Father Peter Ntenge asabye Poliisi n’ab’eby’okwerinda ebirala okukola ennyo okulaba nga bakuuma emirembe mu kiseera abayizi okuli ba P.7, S.4 ne S.6 mwe bagenda okukolera ebigezo bya UNEB eby’akamalirizo.

Mknhil3 703x422

Abayizi abagenda okutuula UNEB nga bawanise emikono basaba wakati mu mmisa.

Fr. Ntege yagambye nti ebikolwa omuli ettemu okuli abazigu abatta abantu nga beeysambisa ebijambiya, abattisa emmundu ssaako ebikolwa okwekalakaasa okusingira ddala okwa bannabyabufuzi biyinza n’okuviirako abayizi okuva ku mulamwa ebibuuzo byabwe ne bitataaganyizibwa mu ngeri ez’enjawulo.

Ono era yagambye nti ebikolwa omuli poliisi okukozesa eryanyi ng’egumbulula abeekalakaasi omuli  n’okukuba ttiyaggaasi n’amasasi nga n’ebiseera ebimu bino bituuka mu masomero bisaanidde okwewalibwa mu kiseera kino.

“Poliisi twandigisuubidde okukuuma amasomero buli gye gali mu ggwanga okuyita obulungi mu kiseera kino kuba okukuuma Bannayuganda nga tebatuusiddwako bulabe gwe gumu ku mirimu gyayo. Tetwetaaga kugiraba ng’ate ekola ebikolwa ebikontana n’ekyo,” Fr. Ntege bwe yalambise.

Okusaba okwo Fr. Ntege yakukoledde ku ssomero lya Forest Hill College e Namawojjolo mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono ku Lwomukaaga mu mmisa abayizi aba S.4 ne S.6 mwe beekwasirizza Katonda asobole okubayisa obulungi mu kiseera eky’okukoleramu ebigezo.

Yasabye ne bannabyabufuzi okwekomako beewale okuteekawo obudde obw’obunkenke obuyinza okutta ebiseera by’abayizi eby’omu maaso ssinga balemererwa okuyita obulungi mu kiseera ky’ebigezo ekigenda okutandika wiiki bbiri mu maaso.

Emmisa eno yakulembeddwa Rev. Fr. John Ssenkooto ng’ono yasabye abazadde okuleka abayizi mu mikono gy’abasomesa baleme kubatataaganya mu kaseera kano bakole gumu gwokka kwe kutuukiriza ebisaanyizo by’amasomero okuli okusasula ffiizi n’ebirala.

Ono yalabudde abayizi, abazadde n’abasomesa okwewala abantu mu kiseera kino abatambuza ebicupuli bye bayita obusasi bw’ebigezo naye nga bibeera biggya bayizi ku mulamwa tewali kirala.

Yalabudde n’abazadde okwewala okuwa abayizi amawulire agayinza okubakuba encukwe ne batuuka okuva ku mulamwa n’agamba nti basaanidde kubazzaamu buzza maanyi.

Omukulu w’essomero Jane Were naye yategeezezza nti balina abayizi 200 abagenda okukola ebigezo bya S.4 nga bano babateeseteese bulungi. Yasabye abazadde obuteetantala kuggya wadde omuyizi n’omu ku ssomero ng’ekiseera eky’okukola ebigezo byonna tekinnaggwako.

“Emirundi mingi abazadde banona abayizi ku masomero nga babuzaayo ekigezo nga kimu ne batuuka ewaka ne bafunirayo ebizibu omuli n’obubenje n’abamu ne batuuka okufiirwa obulamu. Abazadde n’abayizi mbabasaba tubeere n’obugumiikiriza okutuuka ng’omuyizi amaliddeyo ddala ebigezo olwo alyoke anonebwe okuddayo ewaka,” Were bwe yategeezezza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bow 220x290

Owebyokwerinda atulugunya abantu...

Abaakakiiko ka LC bagobye owebyokwerinda lwa kwenyigira mu bikolwa ebimenya amateeka. Bakkiriziganyizza ne basaba...

Go 220x290

Obukadde 60 zifudde ttogge: Ekyuma...

GIWEZE emyaka musanvu nga Museveni awadde abavubuka b’omu disitulikiti y’e Kamuli ekyuma ekyaluza enkoko beekulaakulanye....

Emery1 220x290

Emery atadde abazannyi 7 ku katale...

Emery, ayagala kuggumiza ttiimu ye sizoni ejja era agamba nti abamu ku bazannyi b’alina, tebajja kumukolera k'abatunde...

Drakekagerewanabukukumosesigambingattunkanejosephomondikukkonoweb 220x290

Amateeka gabalemesezza empaka

Abazannyi babiri bagobeddwa mu mpaka za Henry Kaggwa Memorial Cup lwa butamanya ttiimu ntuufu ze balina kuzannyira...

Kib1 220x290

Abakungubazi bakubaganye empawa...

Abakungubazi bakubaganye empawa ku nfa y'omugagga Kiriggwajjo!