TOP

Boolesezza emmere ya Uganda mu Yitale

By Musasi wa Bukedde

Added 1st October 2018

ABALIMI Bannayuganda abaagenze ku mwoleso gw’ebyobulimi e Italy basabiddwa okuyigiriza abaana n’abavubuka mu Uganda emirimu gy’obulimi n’obulunzi lwe bajja okulwanyisa ebbula ly’emirimu n’emmere mu nsi ebivuddeko enjala mu mawanga mangi.

Mmere1 703x422

Bannayuganda nga booleesa mu Yitale.

BYA PADDY NSOBYA
 
ABALIMI Bannayuganda abaagenze ku mwoleso gw’ebyobulimi e Italy basabiddwa okuyigiriza abaana n’abavubuka mu Uganda emirimu gy’obulimi n’obulunzi lwe bajja okulwanyisa ebbula ly’emirimu n’emmere mu nsi ebivuddeko enjala mu mawanga mangi.
 
Akulira ekitongole kya Slow Food mu nsi yonna nga kye kyatutte Bannayuganda okwolesa emmere eva mu Uganda ku katale k’ensi yonna, Carlo Petrine, yagambye nti, abantu bangi bakuze nga bakola obulimi n’obulunzi naye amagezi n’obukugu bye balina tebabitadde mu baana n’abavubuka, era bangi tebalima ekivuddeko ebbula ly’emirimu n’obwavu.
 
Yasabye abalimi mu mawanga gonna okujjumbira okulima emmere yaabwe nansangwa n’okulunda endyo z’ebisolo ennansi n’ategeeza nti emmere eno ye yokka etaleetera bantu ndwadde naddala eziva ku mugejjo.
 
Akulira Slow Food mu Uganda, Edward Mukiibi yagambye nti, omulimu gw’okwagazisa abaana n’abavubuka ebyokulima n’okulunda Slow Food yagutandikako era yakugutwala mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Annotation20190719080947 220x290

Bukedde TV Livestream: Ekyenkya...

Bukedde TV Livestream: Ekyenkya

Massagebeingdonewebuse 220x290

By'olina okutunuulira nga tonnakola...

Nakola masaagi ne ntemwako okugulu era ntambulira mu kagaali - Dr. Karuhanga

Omukubayizingalikobyanyonyolawebuse 220x290

Abawala abazaddeko mubazze mu masomero...

Abawala abazaddeko okudda mu masomero kyakuyigiriza abalala obutakola nsobi n'okubudaabuda abafunye obuzibu bwe...

Teekawo1 220x290

Akakiiko ka bannamateeka kasazizzaamu...

OLUKIIKO olufuzi olwa bannamateeka ba Uganda Law Society olukwasisa empisa lusazizzaamu ekibonerezo ky'emyaka ebiri...

Club 220x290

Vipers bagitutte mu kkooti lwa...

KIRAABU ya Vipers bagitutte mu kkooti lwa kukozesa akabonero kaayo (logo) nga tebasasudde yakakola. Era eyabawawaabidde...