TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bazingizza eyabbye obukadde bwa ssente e Kawanda

Bazingizza eyabbye obukadde bwa ssente e Kawanda

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd October 2018

POLIISI erwanaganye n’abatuuze b’e Kawanda ababadde baagala okutwalira amateeka mu ngalo okutta omusajja agambibwa nti yabbye obukadde bw’ensimbi 50 ku ssundiro ly’amafuta erya Vitro Petro e Kawanda.

Bukadde1 703x422

Aba bodaboda nga bagabana ssente ezaabaweereddwa okubasiima okukwata omubbi

Bya REGINAH NALUNGA NE WASSWA B. SSENTONGO
 
POLIISI erwanaganye n’abatuuze b’e Kawanda ababadde baagala okutwalira amateeka mu ngalo okutta omusajja agambibwa nti yabbye obukadde bw’ensimbi 50 ku ssundiro ly’amafuta erya Vitro Petro e Kawanda.
 
Kigambibwa nti Demasi yali yasaba omulimu ku Vitro ne bamusuubiza okumuyita wabula ku Mmande ssaawa 11:30 ez’oku makya, teyalinze kumuyita yazze n’ayingira
mu ofi isi ya Musa Kakooza maneja w’essundiro lino.
 
Yamusanze alina ssente z’abala okuzitwala mu bbanka, baabadde bakyatudde maneja n’ayitibwa ebweru ng’alina ebimwetaagisa okukolako, Demasi eyabadde azze
n’ensawo omuteekebwa Laptop n’afuna omwagaanya okupakira obukadde 50 n’adduka ku kasasiro siteegi okufuna bodaboda emwongereyo.
 
Oluvannyuma lw’eddakiika nga 15 okuyitawo, Kakooza yakomyewo mu ofiisi ye kyokka ekyasinze okumwewuunyisa ze ssente ze yabadde abala nga zitwaliddwa ate nga
n’omuntu taliiwo.
 
Yafulumye ofi isi n’agamba omukuumi nga ssente bwe zitwaliddwa olwo ne batandikirawo okuwondera bodaboda ne bagisanga e Kawanda ku siteegi ng’alinnya takisi okweyongerayo.
 
Aba bodaboda abaabadde bamugoberera bamuggye mu mmotoka ne batandika okumukuba, bwe yalabye nga bamulemeddeko ne yeefuula afudde.
 
Poliisi okuva e Kawanda olwatuuse Demasi n’adda engulu era n’assa ekikkowe nga muli agamba nti mponye okufa.
 
Oluvannyuma lw’aba bodaboda okukwata omusajja ne ssente zino, maneja Kakooza yazibaggyeko n’aziddusa mu bbanka okwewala abatuuze okuzibabbako ogwokubiri.
Kigambibwa nti Demasi yabadde n’abazigu abalala basatu nga baabadde n’emmundu era baabadde batambulira ku pikipiki etaabaddeko nnamba puleeti.
 
Kigambibwa nti Demasi yasoose kulabwako ng’alina w’alindira ng’akuba essimu.
 
ASP Ronald Wotwali eyaduumidde abaserikale okuva e Kawempe, yagambye nti Demasi akuumirwa mu ddwaaliro e Mulago.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...