TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kabaka amezze Mabiriizi mu musango gwa ‘Kyapa mu ngalo’

Kabaka amezze Mabiriizi mu musango gwa ‘Kyapa mu ngalo’

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd October 2018

KKOOTI ejulirwamu esazizzaamu ekiragiro kye yayisa eri Kabaka ng’emulagira okuwa Male Mabiriizi ebiwandiiko byonna ebikwata ku nsimbi Buganda Land Board (BLB) z’ezze esolooza n’ebyapa ebyamuddizibwa mu 2013 abyeyambise mu musango gwe yamuwawaabira.

Kabakamabiriizi 703x422

Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II

Bya ALICE NAMUTEBI
 
KKOOTI ejulirwamu esazizzaamu ekiragiro kye yayisa eri Kabaka ng’emulagira okuwa Male Mabiriizi ebiwandiiko byonna ebikwata ku nsimbi Buganda Land Board (BLB) z’ezze esolooza n’ebyapa ebyamuddizibwa mu 2013 abyeyambise mu musango gwe yamuwawaabira.
 
Ekiragiro kino lye libadde essanyu lya Mabiriizi lyokka lye yali afunye bukyanga awawaabira Kabaka mu 2016 ng’awakanya enkola ya ‘Kyapa mu ngalo’ omuli okusaba abali ku ttaka ssente okutereeza obusenze bwabwe.
 
Kkooti teyakomye awo, yagasseeko n’okumulagira aliyirire Kabaka ssente z’asaasaanyizza mu musango ezitannamanyika muwendo ekireetedde Mabiriizi
okwecwacwana mu kkooti era afulumye tasalikako musale.
 
Olufulumye kkooti, Mabiriizi ategeerezzaawo nti ensonga azongerayo mu kkooti ey’oku ntikko gy’asuubira ensala eyeetengeredde.
 
Omulamuzi Patricia Basaza ye yali yawa Mabiriizi essanyu ly’ekiragiro kino nga ku bimu Kabaka bye yali alagiddwa okuwa Mabiriizi mubaddemu ebikwata ku ssente
(BLB) eziri mu Bank of Africa ne Stanbic zonna eziggyibwa ku bantu mu nkola ya
Kyapa mu ngalo kwe ziteekebwa.
 
 abiriizi Mabiriizi

 

Ebyapa byonna ebya mayiro Gavumenti by’ezze eddiza Kabaka okuva mu 2013, abantu abazze beewandiisa mu nkola ya Kyapa mu ngalo n’ebikwata ku ttaka okugeza bwe liba lyasingibwa mu bbanka oba lyagabibwa omuntu.
 
Kabaka yajulira ng’agamba nti buno si bwenkanya. Bino byonna Mabiriizi abadde abyagala nti kuba bigenda kumuyamba mu musango gwe okulaga kkooti nti enkola ya Kyapa mu ngalo yaleetebwa na kigendererwa kya kubba bantu.
 
Abalamuzi baagambye nti tebalaba ngeri biwandiiko gye bikwataganamu na musango mw’awakanyiza enkola ya Kyapa mu ngalo kubanga n’emikisa gyagwo okuyitamu mibale.
 
Ku nsonga y’ebyapa kkooti yawadde Mabiriizi amagezi nti asobola okugenda mu minisitule y’ettaka n’asasulayo ssente entono ze basaba n’ayita mu mitendera gye
bateekawo abantu okumanya ebikwata ku byapa.
 
Abalamuzi Egonda Ntende, Hellen Obura, Ezekiel Muhanguzi kuno kwe baasinzidde okwebuuza nti singa Mabiriizi omusango gumumegga ne banne abatamanyiddwa
ng’ebiwandiiko byamuweebwa dda! Kkooti kwe kumulagira okuliyirira Kabaka.
 
Wadde nga Kabaka yawangudde, tekitegeeza nti omusango gwonna ogwa Kyapa
mu ngalo guwedde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20181214at173512 220x290

SC Villa etimpudde Express FC n'ennyogoza...

SC Villa etimpudde Express FC n'ennyogoza abawagizi baayo mu kisaawe e Namboole omupiira gye guyindidde!

Mosesmakoyaniowakibogakuddyongattunkaneambrosenaturindaowantinda 220x290

Kiboga ewaga mu Big League

TTIIMU ya Kiboga FC eyaakesogga Big League eremedde ku Proline FC okugisuuza entikko y’ekibinja kya Rwenzori ekitaddewo...

Hib1 220x290

Omulamuzi atabukidde abakakiiko...

Omulamuzi atabukidde abakakiiko k'ebyettaka e Lwengo

Reb2 220x290

Maneja w’ebbaala ya Casablanca...

Maneja w’ebbaala ya Casablanca asindikiddwa ku limanda

Deb1 220x290

Abakola ebimansulo e Kyetora balabuddwa...

Abakola ebimansulo e Kyetora balabuddwa