TOP

Olutindo lw’e Jinja lugezeseddwa

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd October 2018

ABAKUGU ba kkampuni ezimba olutindo olupya olwa New Nile Bridge nga bali wamu n’ab’ekitongole ky’ebyenguudo ekya Uganda National Roads Authority (UNRA) basimbyeko loole magulukkumi 26 nga balugezesa.

Bridge1 703x422

Olutindo olupya olwa New Nile Bridge Museveni lw’agenda okutongoza nga October 17.

 

Bya DONALD KIIRYA

ABAKUGU ba kkampuni ezimba olutindo olupya olwa New Nile Bridge nga bali wamu n’ab’ekitongole ky’ebyenguudo ekya Uganda National Roads Authority (UNRA) basimbyeko loole magulukkumi 26 nga balugezesa.

Ying. Lawrence Pario avunaanyizibwa ku kuzimba entindo mu UNRA yagambye nti, kati olutindo luwedde okuzimbibwa era Bannayuganda tebabeeramu kutya kwonna okulukozesa kuba lupimiddwa nga lusobola okuwanirira mmotoka.

Pario yategeezezza nti baasimbye mmotoka 13 ku buli ludda lw’oluguudo oluyita ku lutindo olupya nga zijjudde okusobola okupima obuzito bw’olutindo okukakasa obuzito bwe lulina okusitula.

 bimotoka nga bisimbiddwa ku lutindo olupya olwa ew ile ridge bwe baabadde balugezesa e inja Ebimotoka nga bisimbiddwa ku lutindo olupya olwa New Nile Bridge bwe baabadde balugezesa e Jinja.

 

Yagasseeko nti kati, balinze Pulezidenti Yoweri Museveni kulutongoza nga October 17, 2018 lutandike okukozesebwa. Yagambye abanaaluvugirako, baakuvuga sipiidi 80 buli ssaawa obutafaananako sipiidi eya 20 ey’olutindo olukadde olwa Owen Falls Dam.

Polof. Jackson Mwakali amyuka Resident Engineer ku lutindo olupya yategeezezza nti bamaze okukuba kkoolaasi ku nguudo eziyita ku lutindo olupya era nga basigazza kuzikubamu laama n’amataala gali mu kukolebwa n’emiwaatwa egiyisa amazzi gizibikirwe n’amaduuka aganatunda ebyobulambuzi gateekebweko.

Kugenda kuteekebwako ne kkamera okukwata ebifaananyi. Luwemmense bbiriyooni ezisoba mu 400.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Jogo 220x290

Engeri Valencia gye yakomezza ejjoogo...

EJJOOGO Barcelona ly'ebadde eyolesa mu mpaka za Copa del Rey, Valencia yalimazeewo bwe yagikubye ggoolo 2-1 ku...

Tip3 220x290

Bajjukidde lwe baalumba Olubiri...

Bajjukidde lwe baalumba Olubiri ne basabira Obwakabaka

Lab2 220x290

Takisi etomedde abajja e Namugongo...

Takisi etomedde abajja e Namugongo n’etta 4

Kip1 220x290

Owa LC e Kawempe bamwokedde mu...

Owa LC e Kawempe bamwokedde mu nju

Ebya ssentebe w’akatale k’e Busega...

Ebya ssentebe w’akatale k’e Busega babitaddemu Kitatta