TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abaana b’omugenzi Yasin Kawuma batwaliddwa ku musaayi

Abaana b’omugenzi Yasin Kawuma batwaliddwa ku musaayi

By peter ssaava

Added 2nd October 2018

BANNAMWANDU b’eyali ddereeva wa Bobi Wine, Yasin Kawuma bawanyisiganyizza ebisongovu ne ssezaala waabwe Salamat Ssebabi oluvannyuma lw’okubasaba okutwala abaana mu ddwaaliro okubakebera omusaayi.

Yasin1 703x422

Nansubuga (ku kkono), Alice Mwesigwa ne Nakigudde bannamwandu ba Yasin.

Bya PETER SSAAVA
 
BANNAMWANDU b’eyali ddereeva wa Bobi Wine, Yasin Kawuma bawanyisiganyizza ebisongovu ne ssezaala waabwe Salamat Ssebabi oluvannyuma lw’okubasaba okutwala abaana mu ddwaaliro okubakebera omusaayi.
 
Kino kyaddiridde Ssebabi okuwandiikira bannamwandu ng’abategeeza nga bwe balina okumutwalira abaana abatwale ku musaayi okukasa oba nga be bateekeddwa okufuna ku ssente obukadde 20 ezaava ewa Pulezidenti Museveni.
 
Eggulo bannamwandu mukaaga baasisinkanye ssezaala waabwe mu maka ga mutabani we, omugenzi Numan Ssebabi e Lusanja mu kabuga k’e Kasangati mu Wakiso.
 
Ssebabi yabuuzizza omu ku Bannamwandu, Aidah Nakitende yagambye nti, lwaki omwana omu teyamuleese kumukebera musaayi n’amutegeeza nga bwe yagenze okukola ebibuuzo bya P7 era wano Ssebabi kwe kutabuka kuba teri bibuuzo bya P7 bye bakolayo kati, kwe kumulangira obwenzi obwamwagaza Yasin ne muganda we Numan Ssebabi.
 

 

Wano Nakitende we yaviiridde mu mbeera n’alangira ssezaala we okuganza mulamu we n’okwerangira obuyisa obukyamu.
 
Ono era yalangidde ssezaala we nti anoonya w’akuulira ssente za bamulekwa kwe kusooka okwekwasa n’okuteekawo obusongasonga mbu alina kusooka kwekenneenya baana gy’oli ye yababazaalamu!
 
Ssebabi bwe yalabye Nakitende atabuse kwe kumuwa obukadde bubiri nga zino yazikwasizza muzzukulu we Shafik Kayongo n’awa ne Jamil Ssekamatte azaalibwa Robinah Nakiyaga n’abalagira obutaddamu kumusala mu maaso mbu baagala buyambi.
 
Ye Annet Nansubuga yalangidde ssezaala we okusosola mu baana b’omugenzi mu kubatwala okubakebeza omusaayi kye yagambye nti akikoze mu mbeera ya kiyaaye era yandikebedde bonna.
 
Oluvannyuma lw’okuwanyisiganya ebigambo, muganda w’omugenzi, Ismail Ssebabi yabakkakkanyizza era Nansubuga ne Nakigudde nga bali wamu ne ssezaala waabwe ne batwala abaana ku ddwaaliro lya Little Oak Biotech ku kizimbe kya Ham Shopping Mall e Makerere okubakebera omusaayi.
 
Bannamwandu mukaaga be baalabiseeko okwabadde Alice Mwesigwa nnamwandu omukulu, Aidah Nakitende, Beatrice Nakigudde, Annet Nansubuga, Robina Nakiyaga ne Barbara Nassiwa. Ku baana 10 baakebeddeko babiri.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gurad 220x290

Amasomero agatannafuna bigezo bya...

AMASOMERO agamu gakyalwana okuggyayo ebigezo by’abayizi baabwe ebya P7 mu UNEB, ekireese obweraliikirivu mu bazadde...

Won 220x290

Abagambibwa okuferera ku ssimu...

ABAVUBUKA abaakwatibwa oluvannyuma lw’okusangibwa n’obuuma obugambibwa nti babukozesa okubba kkampuni z’amasimu...

Pata 220x290

Abasajja bannemye okulondako

NNINA abasajja babiri era bombi bamalirivu okusinzira ku njogera n’ebikolwa. Naye omusajja omu alina abakyala babiri....

Send 220x290

Eyanfunira omulimu mufiirako

NZE Innocent Katusiime 29, mbeera Nakawa. Buli lwe ndowooza ku ngeri gye nnasisinkanamu maama w’omwana wange essuubi...

Bere 220x290

Ono si katono ‘abasibe’ bamwewagguleko...

MWANAMUWALA ono y’omu ku baabadde balya obulamu ku kivvulu ekyatuumiddwa Floral & Cocktail Party ekyabadde ku Jahazi...