TOP
  • Home
  • Amawulire
  • DP eyimirizza enkung'aana z'okutabaganya bammemba

DP eyimirizza enkung'aana z'okutabaganya bammemba

By Muwanga Kakooza

Added 3rd October 2018

EKIBIINA kya DP kivumiridde poliisi olw’okutabangula emikolo gyakyo egy’okujaguza obuwanguzi bwe kyatuuseeko mu kulonda kwa LC n’abakulembeze ba gavumenti z’ebitundu ebitali bimu mu Town Council y’e Busunju mu disitulikiti y’e Mityana.

Kuba 703x422

Mao ng'annyonnyola

Nobert Mao era ayogedde ku ky’omubaka wa Kyaddondo East, Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) ne Maj. Gen. Mugisha Muntu okusaanikira oluku- ηηaana lwa DP e Masaka n’agamba nti tekimutiisa kuba bombi si balabe be.

Agambye nti ye obwanga abutunuulizza Pulezidenti Museveni gwe yagambye nti, “Y'alina omupiira (obuyinza)”. Bino Mao yabitegeezezza olukuηηaana lwa bannamawulire mu Kampala.

N’agamba nti, ekibiina kyabadde kitegese emikolo gy’okuggulawo ofiisi yaakyo mu kibuga Busunju n’okujaguza obuwanguzi bwe baatuseeko mu kulonda kwa LC okuwedde ku Ssande kyokka poliisi n’ebatwala ntyagi.

“Poliisi twagitegeeza ku mikolo gino kyokka kyatubuuseeko bwe yagitabangudde n’eggala enguudo n’okukuba abawagizi baffe.

Poliisi bw’eteekomye bumenyi bw’amateeka ensi eno etuuse okugwamu akatabanguko,’’ Mao bwe yagambye.

Ku kya Bobi Wine ne Maj. Gen. Muntu okubuutikira olukuηηaana lwa DP e Masaka, nti ye yabayise noolwekyo talina kye yejjusa ku kubeerawo kwabwe.

Yagambye nti, omulabe w’abooludda oluvuganya gavumenti ye Pulezidenti Museveni ng’okuneneηηana n’obutakolaganira wamu kumulwanyisa tekirina we kibayambira.

Yagambye nti, ayogeraganya n’abakulembeze b’oludda oluvuganya okuli; Col. Kiiza Besigye, Patrick Amuriat, Mugisha Muntu, Bobi Wine n’abalala okulaba engeri gye bayinza okufunamu obuyinza.

N’agamba nti, Palamenti y’esibyewo Pulezidenti Museveni noolwekyo abaagala okumusiguukulula balina kulaba ku ngeri gye bongeza ku muwendo gw’ababaka b’oludda oluvuganya.

Mao yeeyogeddeko ng'omuntu asobola okuyamba okugatta Bannayuganda kuba alina akakwate ku bantu b’omu bukiikakkono ne mu bugwanjuba bwa Uganda naddala Ankole ng'ate y’akulira mu buvanjuba bwa Uganda ng'asobola n'okwogera ennimi omuli n'Oluganda.

N'agamba nti, n'emyaka gye gisobola okugatta abavubuka n'abakadde kuba agwa wakati.

“Bobi Wine alina omuwendo gw'abantu bangi (abavubuka), abakadde balina ssente n'obuyinza ng'ate ffe abagwa wakati awo tulina obusobozi. Noolwekyo nze omu ku bayinza okugatta Bannayuganda.

Bannayuganda bwe baba batuuse okubaako ekintu kyonna kye basalawo balina okutunula mu nsonga zino,” Mao bwe yagambye.

Ku ffujjo n’ebikolwa by’obusiiwuufu bw’empisa omwabadde n’okuηηoola abamu ku bakulembeze b’ekibiina byefuze olukuηηaana lw’e Masaka ne bitta ekigendererwa kyalwo ekikulu eky’okwegatta okwongera okufuna amaanyi.

Yagambye nti, bagenda kussaawo n’okubuuliriza ku beetabye mu ffujjo lino n’okulaba engeri y’okubakangavvula era ne yeetondera abaakoseddwa.

Mao yagambye nti, abakulembeze ba DP omuli abakulira ekibiina, ababaka ba Palamenti n’abalala bagenda kugenda mu lusirika okulaba engeri y’okutwalamu ekibiina mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Titi 220x290

Omutuuze w’e Kanyanya afiiridde...

Muky. Roninah Nakacwa Kyaterekera Kirumira 69, baamututte mu Amerika okumujjanjaba obulwadde bwa kansa kyokka n’afa...

Busy1 220x290

‘Nze ebya laavu nabivaako nneekubira...

BW’OBA onyumya n’omuyimbi w’ennyimba za laavu David Lutalo emboozi ye ewooma era mubeera mu kuseka n’okukuba obukule....

Gurad 220x290

Amasomero agatannafuna bigezo bya...

AMASOMERO agamu gakyalwana okuggyayo ebigezo by’abayizi baabwe ebya P7 mu UNEB, ekireese obweraliikirivu mu bazadde...

Won 220x290

Abagambibwa okuferera ku ssimu...

ABAVUBUKA abaakwatibwa oluvannyuma lw’okusangibwa n’obuuma obugambibwa nti babukozesa okubba kkampuni z’amasimu...

Pata 220x290

Abasajja bannemye okulondako

NNINA abasajja babiri era bombi bamalirivu okusinzira ku njogera n’ebikolwa. Naye omusajja omu alina abakyala babiri....