TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Palamenti ekkirizza omusolo ku 'Mobile Money' gusigalewo

Palamenti ekkirizza omusolo ku 'Mobile Money' gusigalewo

By Muwanga Kakooza

Added 3rd October 2018

PALAMENTI ekkirizza omusolo ku ‘Mobile Money’ gusigalewo wakati mu kusika omuguwa.

Twala 703x422

Omubaka Kyagulanyi (Bobi Wine) yazze mu Palamenti eggulo. Wano ng’awanise omukono ne mubaka munne Basalirwa okuwakanya omusolo ku ‘Mobile Money.

Ababaka okuli n’abamu ku ba NRM nga Muyanja Ssenyonga baafunvubidde guveewo kyokka abalala abaakulembeddwa Baminisita n’aba NRM ne balemerako gusigalewo.

Akalulu ke kaalaamudde, kyokka nako kaddiddwaamu emirundi ebiri kubanga waliwo abataamatidde na byavudde mu kaasoose.

Palamenti eyakubyeko, n’ababaka abamu ne babulwa we batuula bwe yakubye akalulu, ababaka 164 baasembye gusigalewo era be baawangudde.

Abaawakanyizza omusolo okwabadde ne Bobi Wine eyazze mu Palamenti omulundi ogusooka bukya akwatibwa nga August 13, baabadde 124.

Pulezidenti yasoose kusisinkana babaka ba NRM ku Mmande ne bakkaanya okuwagira omusolo kyokka nga gusaliddwaako okuva ku kitundu kimu ku 100 (1%) ne guzzibwa ku 0.5%. Era ssinga kino tekyakoleddwa, abawakanya omusolo balabika akalulu baabadde bakatwala.

Omusolo guno gwassibwa mu bajeti ya 2018/19 kyokka ne guzuulwa nga gunyigiriza nnyo abantu okuva lwe gwatandika nga July 1.

Pulezidenti yaleeta ekirowoozo gusalibwe okudda ku 0.5% era guggyibwe ku baggyayo ssente bokka.

Kyokka ababaka abalala nga basemba guggyibwewo kubanga gunyigiriza abantu ate tewali tteeka liruηηamya ‘Mobile Money’.

Mu kiseera kye kimu Gavumenti eggya ssente nnyingi ku makampuni g’essimu agaddukanya ‘Mobile Money’.

Ekiteeso ky’okuggyirawo ddala omusolo kyaleeteddwa Wilfred Niwagaba (Ndorwa East) kyokka nga kyasooka kuleetebwa Lutamaguzi Ssemakula owa Nakaseke South. Bobi Wine yakyongeramu amaanyi bwe yakunga abantu okuguwakanya.

Ng’akalulu tekannakubwa waabaddewo abawagira omusolo okuli Minisita omubeezi ow’Ebyensimbi, David Bahati abaategeezezza nti bwe guggyibwawo Gavumenti egenda kufi irwa obuwumbi 115 mu misolo.

Ne beebuuza nti eggwanga linabeerawo litya ng’omusolo gugaaniddwa? Yawagiddwa nnyo Omumyuka wa Pulezidenti, Edward Ssekandi, Nampala wa NRM, Ruth Nankabirwa ne Baminisita okuli ow’Ebyensimbi Matia Kasaija bakira abeetawula okunnyonnyola ababaka omu ku omu balabe ekifaananyi ekigazi ekyaleesa omusolo ogwo.

Kyokka abaguwakanya okuli Muhammad Nsereko (Kampala Central), Medard Ssegona ne Moses Kasibante baafunvubidde nti ‘Mobile Money’ ky’ekiddukiro ky’omunaku.

Okusolooza omusolo ogwo kitegeeza kunyigiriza munaku ate ng’amakampuni agaddukanya ‘Mobile Money’ gaba gaamala dda okusasula Gavumenti emisolo.

Mu kiseera kye kimu buli akozesa ‘Mobile Money’ aliko ssente ezigenda eri amakampuni ago.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabakafitri1 220x290

Kabaka ayagalizza Abasiraamu Idd...

KABAKA Ronald Muwenda II alagidde Bannayuganda okukuuma emirembe n’okusonyiwagana mu kiseera kino ng’Abasiraamu...

Mknded4 220x290

Famire eziyiridde mu nnyumba nga...

Abasiraamu mu kibuga ky’e Mukono baaguddemu encukwe ku Iddi munnaabwe eyabadde akedde ku maliiri okufumba emmere...

Mknmm3 220x290

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa...

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa Mukono ng’alina Corona virus-atwaliddwa mu kalantiini n’abalala babiri be...

Ssaavasennyonga 220x290

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere...

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere ya bukadde 300 okudduukirira abali ku muggalo

Lockdown309 220x290

Eyali awola ssente azzeeyo mu nnimiro...

ENSWA bw'ekyusa amaaso naawe ng'envubo okyusa ne Charles Tamale envubo agikyusirizza mu nkumbi okubaako ettofaali...