TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Museveni alagidde abasawo babawe omusaala oguli ku ddaala ly’ensi yonna

Museveni alagidde abasawo babawe omusaala oguli ku ddaala ly’ensi yonna

By Joseph Makumbi

Added 3rd October 2018

PULEZIDENTI Museveni alagidde Bannassaayansi ba Uganda be baba basinga okusasulwa emisaala eminene batuukane ne bannaabwe ab’omu mawanga ag’ebweru.

Dumba 703x422

Pulezedenti Museveni ng’alambula akamu ku busenge bw’eddwaaliro ly’abakyala we bakeberera omusaayi.

Yalagidde abasomesa amasomo ga ssaayansi omuli n’ebyobulimi basasulwe mu ngeri ya njawulo ku bakozi abalala. Yabadde aggulawo eddwaaliro ly’abakazi ery’omulembe e Mulago eggulo.

Eddwaaliro lino liteereddwaamu ebyuma eby’omulembe, lirimu abasawo abakugu mu ndwadde z’abakazi, nga lyamazeewo obukadde bwa doola za Amerika 20.

Museveni yalaze nti, ku ssaawa eno, Uganda erina badokita 2,500 ne bannansi 23,000 n’agamba nti, baakuweebwa ssente basobole okukola emirimu gyabwe nga bamativu.

Museveni bwe yatuuse ku ddwaaliro ku ssaawa nga 6:00 ez’emisana, yayaniriziddwa minisita w’ebyobulamu Dr. Jane Ruth Achieng n’omubeezi we Dr. Sarah Opendi n’abakungu b’e Mulago.

Yasoose kubikkula jjinja eryasimbiddwa ku ddwaaliro ng’akabonero k’okulitongoza olwo n’atandika okulambuzibwa obusenge obwenjawulo omuli n’ak’omukulembeze w’eggwanga mwalina okujjanjabirwa.

Dr. Sarah Opendi yagambye nti, eddwaaliro lino baatandika okulizimba mu 2013 ne litandika okukozesebwa nga September 17, 2018.

Yagasseeko nti, mu kiseera kino, obujjanjabi bwe bagaba bukyali bwa bwereere okutuusa ng’ameefuga ga Uganda nga October 9 gawedde oluvannyuma batandike okusasuza.

Yagambye nti, abantu abagenda okujjanjabirwa mu ddwaaliro lino, balina okubeera n’ebbaluwa okuva mu malwaliro agawansi ezibasindika okufuna obujjanjabi obw’ekikugu mu ddwaaliro eppya n’agamba nti abanaaba tebasindikiddwa nga bazze ku lwabwe be bajja okusasula ssente z’okulaba omusawo (Consultation fee).

Yagasseeko nti, waliwo ebitonotono bye batannasobola kukolako kubanga waliwo ebitannatereezebwa kyokka mu bwangu bajja kutegeeza eggwanga lwe banaatandika okubikolako.

Dr. Baterena Byarugaba akulira eddwaaliro ly’e Mulago yagambye nti, eddwaaliro lino lyali lyetaagibwa okuva mu 1960.

Yagambye nti, ku busobozi bwe balina essaawa eno mu ddwaaliro eppya, basobola okulongoosa abakazi abazaala 10 omulundi gumu n’abazadde obulungi basobola okuzaazisa 30 mu kiseera kye kimu.

Yategeezezza Museveni nti wadde eddwaaliro lizimbiddwa ne Mulago omupya azimbibwa, bakyalina ebibasoomooza bingi.

Dr. Baterana yagambye nti, yeetaaga obuwumbi 101 singa abalwadde be bajjanjaba baba tebagenda kusasula kyokka mu bajeti, bafuna obuwumbi 19 bwokka n’asaba bongerwe ku ssente.

Yagambye nti, yeetaaga abasawo 3,075 wabula mu kiseera kino, alina abasawo 1,370 n’alaga nti yeetaaga ssente okusobola okuwandiika abasawo abalala.

Dr. Jane Ruth Achieng yagambye nti, okuva nga September 17 okutuusa Museveni lwe yaligguddewo, baakajjanjaba abalwadde 1,040.

Yagambye nti ku bano kuliko abaalongooseddwaamu abaana n’abazadde obulungi.

Yagambye nti, abalwadde abanaaba bayise mu mitendera emituufu, baakusalirwako ku bisale ate abo abanaaba tebasobola kusasula, wajja kuteekebwawo akakiiko akeekebejja ensonga zaabwe bakolebweko.

Museveni yagambye nti, eddwaaliro lino, ligenda kumalawo eky’abantu okugenda ebweru okunoonya obujjanjabi.

Yawadde abantu amagezi n’agamba nti, okuziyiza y’engeri yokka esobola okulwanyisa endwadde.

Yabawadde amagezi okwegemesa, okunywa amazzi amayonjo, okulya obulungi kubanga endwadde ezisinga obungi ziva ku ndiisa, okukyusa mu nneeyisa kubanga obulwadde nga mukenenya buyita mu nneeyisa, engeri abantu gye bakwatamu obulamu, okulwanyisa omusujja gw’ensiri n’ebirala.

Yagambye nti, amalwaliro gonna agazimbibwa, tegagenda kubeera ga kujjanjaba buli bulwadde n’agamba nti, abalwadde ekiddukano, omusujja, amannyo n’ebirala, banoonye obujjanjabi mu malwaliro aga wansi n’alagira Dr. Acheing okulinnyisa omutindo gw’amalwaliro ga Health Center IV.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kazi 220x290

Eyandesa omulimu ansuddewo

NZE Mediatrice Kubwimana 28, nzaalibwa Burundi naye nga mbeera Namugongo Zooni II. Mu 2011, nafuna omulimu gw’obwayaaya...

Civil 220x290

Omukazi atagambwako yali antamizza...

ENNAKU gye ndabidde mu nsonga z’omukwano mpitirivu era nabulako katono okugwenenya.

Funa 220x290

Eyantwala ku yunivasite yanzitattana...

NZE Jennifer Alwoch 26, mbeera ku kyalo, Adyel mu Lira. Bazadde bange bampeererako okutuuka mu S6 naye ssente ezinyongerayo...

Ssenga1 220x290

Lwaki mpulira sirina maanyi ga...

SSENGA mpulira nga sirina bulungi maanyi ga kisajja. Naye bwe neegatta amaanyi ngafuna bulungi naye ndowooza nti...

Ssenga1 220x290

Ensundo ya muganzi wange entiisa...

SSENGA nnina omuwala gwe njagala naye alina ensundo empanvu ku kisambi. Mugamba agende mu ddwaaliro agamba nti...