TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba DP bajeemedde Mao ku by’okuyimiriza enkung'aana

Aba DP bajeemedde Mao ku by’okuyimiriza enkung'aana

By Benjamin Ssebaggala

Added 4th October 2018

ABATEGEKA enkung'aana z’okudding’ana n’okugonjoola ebyasoba mu DP, bajeemedde ekiragiro kya pulezidenti w’ekibiina Nobert Mao eky’okuziyimiriza.

Dohpspqx0ae0mck 703x422

Walter Lubega Mukaaku omukwanaganya w’emirimu ku lukiiko olutegeka ne Dr. Abed Bwanika pulezidenti wa PDP bategeezezza Bukedde nti bwe wabeerawo eby’okugonjoola bajja kubitereeza ng’entegeka z’olukuhhaana oluddako olugenda okubeera e Jinja zigenda mu maaso.

Akola nga Ssaabawandiisi wa DP, Gerald Siranda abalabudde nti bwe baba bakakasa nti DP erina omukono mu nteekateeka zino bakkirize Mao kye yalagidde.

Agamba nti kino Mao teyakikoze mu mutima mubi wabula baagala basooke beetereeze ku bumulumulu obubaddewo naddala lwe baali e Masaka wiiki ewedde abamu ku bawagizi ne baagala okulwana n’okuhhoola abakulembeze.

Mao yasinzidde mu lukuhhaana lw’abamawulire ku Lwokubiri ne yeetondera abagenyi olw’obuswavu obwabaddewo ng’abawagizi beekola ebitasaana.

Wano we yasinzidde n’ategeeza nti olw’embeera eyo yataddewo akakiiko kabuulirize era n’alagira enkuhhaana zino ziyimirizibwe okutuusa ng’akakiiko kawadde lipooti kyokka teyawadde bbanga mwe kagenda kukolera mulimu guno.

Dr. Bwanika yagambye nti baabadde bagenda kwogerezeganya ne Mao kubanga baabadde tebanyi nsonga kwe yasinzidde kusalawo bye yalangiridde.

“Twakkiriziganya dda nti olukung'aana oluddako lwakubeera Jinja, obumulumulu obwabaddewo tujja kubutereeza kubanga olukung'aana terutegekebwa mu mwezi gumu, ” Dr. Bwanika bwe yaggumizza.

Mukaaku yagambye nti okuteekawo enteekateeka bwe ziti baayita bammemba ba UYD, DP, abawagizi n’abaagaliza DP ebirungi n’awera nti olukung'aana oluddako lulina okugenda mu maaso kubanga abantu bonna weebali tebayinza kulaba ng’ekibiina kitandise okuddamu amaanyi mu bantu ate bayimirize ebikizzizza engulu.

Munnamateeka Luyimbaazi Nalukoola mmemba wa DP yagambye nti enteekateeka z’okwegatta bwe zizze n’abaagala ebifo batandise okwesowolayo.

Mao mutuufu okuyimirizaamu basobole okwetegereza kubanga bw’alaba nga waliwo ebitatambula bulungi alina okuyimirizaamu.

Kansala Moses Kataabu ssentebe wa DP mu Kampala Central era atuula ku lukiiko olutegeka enkuhhaana z’okuddihhana, yagambye nti emisinde DP kw’etambulira kati teyeetaaga kutataaganya.

EKIRI MU FDC

Ssaabawandiisi wa FDC era omubaka wa Budadiri West, Nathan Nandala Mafabi, ku Mmande ya wiiki eno yafulumizza ekiwandiiko ng’ategeeza nti bafunye amawulire nga Gen. Mugisha Muntu yalangiridde nti atandise ekisinde kya New Formation era ategeka kutandika kibiina kya byabufuzi ekipya.

Mu kkubo lyerimu waliwo bammemba ba FDC abali mu bifo by’obukulembeze abaagala okumwegattako.

Yabalagidde buli akutte ekkubo lino, mu bbanga eritasussa wiiki bbiri bawandiikire ekibiina nga bakakasa nti bakyali bammemba abajjuvu, ataakikole kyokka ng’atambulira mu kisinde ekikontana n’ekibiina bajja kukitwala nti yasala eddiiro.

Omwogezi w’ekibiina Ibrahim Ssemujju Nganda yategeezezza Bukedde nti, ebiri mu bbaluwa eno, bisaana kunnyonnyolwa oyo yennyini eyagiwandiise.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sud1 220x290

Abaliko obulemu babagabudde ebya...

Abaliko obulemu babagabudde ebya ssava bya Ssekukkulu

Sub1 220x290

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi...

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi bw'omwaka n'aweebwa Subaru empya ttuku

Tysonfury 220x290

Tyson Fury si waakuzannya Anthony...

Fury agenda kudding'ana ne Deontay Wilder mu February w'omwaka ogujja.

Parma 220x290

ManU etunuulidde musaayimuto wa...

ManU ekyayigga bazannyi banaagizza ku maapu sizoni ejja. Mu kiseera kino eri mu kyamukaaga ku bubonero 24.

2018wolvesceleb32 220x290

Arsenal esabye Wolves olukusa eyogere...

Nuno Espirito yatendekako Valencia eya Spain, FC Porto ne Rio Ave ez'e Portugal nga tanneegatta ku Wolves.