TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Beti Kamya awagidde Musisi okuzira enkiiko za Lukwago

Beti Kamya awagidde Musisi okuzira enkiiko za Lukwago

By Hannington Nkalubo

Added 4th October 2018

MINISITA wa Kampala Beti Namisango Kamya, awagidde dayirekita wa Kampala Jennifer Musisi Ssemakula, n’abakulu mu kitongole kya KCCA abaagaanye okwetaba mu lukiiko lwa Loodi meeya Erias Lukwago olwayiise ku Lwokubiri.

Luk 703x422

Lukwago ng'afuluma mu lukiiko lwa kanso olwayiise

Ofiisi ya minisita Kamya yategeezezza nti byonna ebyabaddewo baabimutegeezezza n’asalawo nti ensobi yabadde ku Loodi meeya Erias Lukwago.

“Lwaki tayagala kusooka kwebuuza ku bakozi mu kitongole ng’agenda okuyita enkiiko? Olunaku lwe yabadde ayitiddeko olukiiko abakozi nabo lwe batuuza olukiiko olunene mu kitongole era bulijjo tekubeerako lukiiko lulala lwonna. Baabadde batuufu obutagendayo”, Kamya bwe yategeezezza.

Ku Lwokubiri olukiiko lwa KCCA olufuga Kampala nga lutuulamu bakansala ne Loodi meeya terwabaddewo ng’entabwe eva ku badayirekita mu kitongole abakulirwa Musisi okugaana okulwetabamu.

Bakansala baatabuse ne balangira ba dayirekita okubalemesa emirimu ate nga bonna baategeezebwa mu budde.

“Loodi meeya yawandiikira buli ofiisi ekwatibwako ng’ebula ennaku 14 eziragirwa mu mateeka. Wadde yakikola baagaanye ne beekwasa ensonga endala. Tetumanyi bino gye binaggweera naye nze bankoze bubi nnyo,” Buwembo akiikirira abaliko obulemu bwe yagambye.

Lukwago yasoose kutuuza bakansala mu ofiisi ye ne babiteesaamu ne bakkiriziganya nti bonna bagende mu kisenge ekiteesezebwamu gye baba basalirawo.

Bakansala mu bukambwe baayingidde ekisenge ekiteesezebwamu ne batuula okumala eddakiika kkumi nga tebalina gwe balaba era ne bavumirira badayirekita okubalabisa obubi mu maaso g’abalonzi.

Lukwago yategeezezza nti yawandiikira Jennifer Musisi ne badayirekita abalala mu budde kyokka olw’okuba balina ebigendererwa byabwe ebirala okumulemesa, baagaanye okwetaba mu lukiiko.

Okutuuza olukiiko luno kiddiridde Beti Kamya okuwandiikira Lukwago ng'amutegeeza nti addemu atuuze enkiiko era Lukwago yabadde azzeemu okuziyita kyokka lwe yatandikiddeko ne luyiika.

Yaggyeeyo ebbaluwa kwe yayitira olukiiko nga bonna abakwatibwako yabawandiikira kyokka yeewuunyizza okumutegeeza nti ate balinako olukiiko olulala.

“Olukiiko lwa KCCA (olwa bakansala) lwe lusinga obukulu era buli mukozi mu kitongole ali wansi wa lukiiko luno. Naye bagamba batya nti ate balina olukiiko lw’abakozi ffe twongereyo olwaffe! Lukwago bwe yacwanye.

Wakati mu busungu, bakansala baawooyawooyezza Lukwago ne bamusaba addemu aluyite nga October 10 omwaka guno era balabe abakozi kye bagenda okwekwasa.

Oluvannyuma Peter Kaujju omwogezi wa KCCA yategeezezza nti ofiisi ya dayirekita yawandiikira eya Loodi meeya ng’emutegeeza nti ku Lwokubiri tebagenda kusobola kwetaba mu lukiiko luno kyokka ye n’agaana okulwongerayo.

Bakansala baagenze bayomba nti badayirekita babalemesezza emirimu era ne bagamba nti ensonga bagenda kuzongerayo mu palamenti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Annotation20190718192802 220x290

Okwogera kwa Pulezidenti Museveni...

Okwogera kwa Pulezidenti Musevebni eri eggwanga. Tuli mu maka g'Obwapulezidenti e Nakasero

Massagebeingdonewebuse 220x290

By'olina okutunuulira nga tonnakola...

Nakola masaagi ne ntemwako okugulu era ntambulira mu kagaali - Dr. Karuhanga

Omukubayizingalikobyanyonyolawebuse 220x290

Abawala abazaddeko mubazze mu masomero...

Abawala abazaddeko okudda mu masomero kyakuyigiriza abalala obutakola nsobi n'okubudaabuda abafunye obuzibu bwe...

Teekawo1 220x290

Akakiiko ka bannamateeka kasazizzaamu...

OLUKIIKO olufuzi olwa bannamateeka ba Uganda Law Society olukwasisa empisa lusazizzaamu ekibonerezo ky'emyaka ebiri...

Club 220x290

Vipers bagitutte mu kkooti lwa...

KIRAABU ya Vipers bagitutte mu kkooti lwa kukozesa akabonero kaayo (logo) nga tebasasudde yakakola. Era eyabawawaabidde...