Naalinya yattibwa ne Kirumira e Bulenga nga September 8, 2018. Ku Mmande, Kiyemba yatwaliddwa aba CMI okubalaga engeri gye baakubamu Kirumira ne Mbabazi ebyasi.
N’abategeeza nti ye omulimu gwe gwali kulinnya Kirumira kagere okumanya entambula ze zonna.
Yalina okubuulira banne ku ssimu buli Kirumira waali basobole okulondako ekifo ekituufu we balina okumuttira. Ensonda zaategeezezza nti Kiyemba yakoze siteetimenti mwe yategeerezza nti, misoni y’okutta Kirumira yali ebakaluubiridde kubanga Kirumira yali yeekengera nnyo ng’amasimu agakyusa buli kiseera.
Yagambye nti baagezaako okumulondoola nga bakuba ku ssimu ye (essimu eraga omulongooti oba ekitundu mweri) kyokka nga buli lwe baba ng’abamufuna ate n’ababulako.
Bagenda okuddayo okumuwuliza ng’ali mu kifo kirala. Baayiiya okukozesa ennamba za Kirumira enkadde ze baalina okulaba amasimu agaali gasinga okumukubirwa oba ye okukuba.
Baafuna ennamba eziwerako kyokka bwe beetegereza ennyo ebifo abamukubira mwe basinziira, kwe kugwa ku ya Mbabazi eyali atera akumubira ng’asinziira Bulenga ate nga ne Kirumira yali amukubira nnyo.
Baakimanya nti Mbabazi ye muntu omutuufu gwe bateekwa okweyambisa okutuukiriza misoni yaabwe.
Baamunoonyerezaako ebimukwatako ne bakizuula nti, yali akola ku dduuka lya Mobile Money e Bulenga era ne basooka batuuka w’akolera okukakasa bw’afaanana.
Beefuula abaagala okusindika ssente nga bakozesa edduuka lya Mbabazi erya Mobile Money era ne bafuna kye baagala.
Baatandika okulumika amasimu ga Mbabazi ng’akubira Kirumira ne bazuula nti y’omu ku bantu be yali asinga okwogera nabo.
Baali boogera kumpi buli lunaku ate nga Kirumira amuwa obudde bungi. Kiyemba yagambye nti baasalawo misoni y’okutta Kirumira okugimaliriza nga September 8, oluvannyuma lw’okuzuula nga Kirumira ne Mbabazi baalina okusisinkana ku lunaku olwo.
Ku ssaawa 4:00 ez’enkya, Mbabazi yakubira Kirumira ne babaako bye boogera kyokka Kirumira n’amuddamu nti aliko gy’agenda ku kwanjula banaayogera edda.
Ku ssaawa 11 ez’olweggulo, Mbabazi yaddamu okukubira Kirumira okumanya oba emikolo giwedde n’amuddamu nti akyali ku mukolo ku lw’e Ntebe naye bw’anaamaliriza akomawo butereevu ewuwe e Bulenga. Bakkaanya basisinkane kumpi n’edduuka Mbabazi we yali akolera.
Kiyemba yagambye nti bwe baawulira pulaani eno baafuna obumativu nti tejja kukyuka era nabo ne batandika okuluka engeri gye banatta Kirumira.
Mbabazi naye baamuttiramu kubanga baali tebalina bwe bamuwonya. Kirumira bwe yali asimbula okuva ku lw’e Ntebe yakubira Mbabazi okumutegeeza. Era abatemu kwe kuliimisa Kirumira okutuusa lwe yayingirawo e Bulenga.
Tebaasooka kupapa kubaako kye bakolawo okutuusa lwe yasimba emmotoka olwo Mbabazi n’ayingira ne balyoka babatemula bombo.
Mu musoni eno, Kiyemba yali n’abantu abalala okuli Abdul Kateregga eyattiddwa ku Lwokutaano ekiro e Namung’oona.
BAAMUKWATIDDE WAKISO
Kiyemba mu siteetimenti ye agamba nti olwamala okukuba Kirumira amasasi, yapangisa loogi ku Mwenda ku lw’e Mityana okumpi n’e Bulenga we yasula. Ate banne ne bagenda n’emmundu ze baakozesa.
Enkeera yavaawo ne yeeyongerayo e Yumbe mu Bukiikakkono bwa Uganda, gye yamala ennaku ttaano ng’agoberera ebigenda mu maaso.
Lipoota ze yafuna zaalaga nga tewali amulondoola, kwe kukomawo mu Wakiso okusisinkana abantu baabadde abanja.
Ensonda zaategeezezza nti Kiyemba bwe yabadde e Wakiso, yabadde ayogera n’omu ku baserikale ba poliisi abateeberezebwa okwenyigira mu ttemu lino era nga balondoola essimu y’ofiisa wa poliisi.
Wano we baamuzingirizza ne bamukwata.
FAYIRO ETWALIDDWA EW’OMUWAABI WA GAVUMENTI
Kiyemba bwe yamaze okukola siteetimenti ng’akkirizza ebyaliwo era n’alaga aba CMI we baayimirira okutta Kirumira, fayiro kigambibwa nti yaweerezeddwa ew’omuwaabi wa Gavumenti ng’eriko emisango gy’obutemu ebiri.
Omusango ogumu gwe gw’okutta Kirumira nga September 8, 2018 ate ogwokubiri gwa kutta Mbabazi.