TOP

Omu ku bagambibwa okutta Kirumira avunaaniddwa

By Musasi wa Bukedde

Added 4th October 2018

Omusajja agambibwa okwenyigira mu kutta Muhammad Kirumira aleeteddwa mu kkooti e Wakiso n'asomerwa emisango ebiri.

Tata 703x422

Karungi ng'atwalibwa mu kkooti

Abubaker Karungi (42)nga mu bazzi mu bitundu by'e Bulenga asomeddwa emisango ebiri okuli okutta Muhammad Kirumira wamu n'omukyala Resty Mbabazi b'agambibwa okubakuba amasasi ng'ayambibwako banne abakyanoonyezebwa mu bitundu by'e Bulenga mu Wakiso. 

Oludda oluwaabi nga lukulembeddwaamu  Josephine Nanyonga lutegeezezza kkooti nti Karungi ng'ali wamu be banne abakyanoonyezebwa baasindirira emmotoka ya Kirumira amasasi ne gamuttirawo wamu ne Mbabazi nga 8th September 2018. 

Omulamuzi w'eddaala erisooka mu kkooti e Wakiso, Martin Kirya y'asomedde Karungi omusango n'amulagira obutabaako ky'ayogera kuba omusango ogumuvunaannibwa gwa nnaggomola oguwulirwa kkooti Enkulu.

Ono asindikiddwa ku limanda e Kigo wakati mu byokwerinda eby'amaanyi era waakuzibwa nga 19th October 2018 okuwerennemba n'emisango.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sema 220x290

Mesach ekivvulu kimuwuuba

OMUYIMBI Mesach Ssemakula amanyiddwa nga Golden Papa kati gwe baawadde n’ekitiibwa kya ‘‘Sir’’ bw’oba omunoonya...

Funa 220x290

Square Milez ne Deborah Kandi temwekola...

ABAYIMBI Deborah Nakandi eyeeyita Deborah Kandi ne Kisaakye Micheal Joseph amanyiddwa nga Square Milez ebintu bye...

Baba 220x290

Swengere ne Maama Kalibbala bali...

HUSSEIN Ibanda amanyiddwa nga Swengere ne munnakatemba munne Maama Kalibbala bali luno.

Lap2 220x290

Owoomuluka awerennemba na gwa ttaka...

Owoomuluka awerennemba na gwa ttaka

Siralexferguson1132188 220x290

Aba ManU bampisaamu amaaso - Sir...

EYALI omutendesi wa ManU, Sir Alex Ferguson ayogedde ku mbeera eyali ttiimu ye gy'erimu n'agamba nti ekwasa ennaku....