TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abazadde muve mu bikolwa eby’ekirogo - Bp. Luwalira

Abazadde muve mu bikolwa eby’ekirogo - Bp. Luwalira

By Musasi wa Bukedde

Added 5th October 2018

Omulabirizi w’e Namirembe Rt. Rev. Wilberforce Kityo Luwalira abuuliridde abazadde bave mu bikolwa eby’ekirogo nti kubanga bittattana amaka.

Tandika1 703x422

Luwalira ng’ateekako abayizi emikono.

Bino Luwalira yabyogeredde mu bazadde n’abayizi ab’essomero lya Atlas High School e Gayaza ku mukolo kwe yateereddeko abayizi Abakristaayo 40 emikono.

“Eyo mu masabo gye mugenda okusaba obugagga teriiyo kalungi, sitaani bw’omuwa akagalo atwalira ddala n’omukono noolwekyo ebyo bye mukola ng’abaana balaba balowooza nti bye bituufu,” Luwalira bwe yagambye.

Luwalira yagambye nti abamu bali mu bizinensi kyokka baaziwongayo dda mu bikolwa ebya sitaani ne beerabira nti Katonda y’asinza amaanyi.

Yakuutidde abayizi okwewala ebikolwa ebya sitaani kubanga bakoze endagaano ey’olubeerera ne Katonda.

Akulira essomero lino, Muky. Sarah Serunjogi yagambye nti empisa n’eddiini babiteekako nnyo essira okulaba ng’abayizi tebonooneka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...