TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Paasita Bujingo asimattuse okugajambulwa mu kusaba e Namboole

Paasita Bujingo asimattuse okugajambulwa mu kusaba e Namboole

By Lawrence Kitatta

Added 6th October 2018

Paasita Bujingo asimattuse okuganjambulwa omusajja eyamulumbye ku kituuti n'amuvumbagira mu kusaba kwa Independence Night mu kisaawe e Namboole.

Bugingi8 703x422

Omusajja ono ataategeerekese mannya yabuuse okuva mu bantu we yabadde atudde ng’alaba Bugingo ajja olwo namusiba enkalu omulundi gumu era abasirikale abakuuma Bujingo be baamumutaasizzaako wamu n’abaweereza mu kanisa ye eya House of Prayer Ministries International.

Oluvannyuma omusajja bamututte nga talinnya ne bamukwasa poliisi olwo okusaba ne kugenda mu maaso.

Okusaba kuno kwetabiddwaamu nnamungi w’abantu era ekisaawe kyakubyeko ne kibooga nga n'abantu baasigadde wabweru wa kisaawe olw'omujjuzo mu nda era bakira okusaba n'ebirala ebigenda mu maaso babirabira ku ntimbe ezaateereddwa wabweru w'ekisaawe.

alt=''
alt=''

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bim1 220x290

kkooti ewadde ekiragiro ku mpaka...

kkooti ewadde ekiragiro ku mpaka z'obubina

Lop1 220x290

Eyawambye omwana ku ssomero n'asaba...

Eyawambye omwana ku ssomero n'asaba ssente poliisi emukutte

Kis1 220x290

Omulimu gw'okuzimba ekisaawe kya...

Omulimu gw'okuzimba ekisaawe kya Nakivubo gutambula bulungi

Sarangabaagaembuzinekikondekyekunokwebayitaokugikubaekikondeweb 220x290

Ntunda mitwe gya mbuzi okuweerera...

Emitwe gy'embuzi gye nsasulwa mu kuzibaaga mwe mpeeredde abaana n'okwongerako emirimu emirala.

United1 220x290

Kiikino ekizembe kw’olabira Dubai...

DUBAI eyongedde okussaawo likodi! Ku kizimbe ekisinga obuwanvu mu nsi yonna, egasseeko ekizimbe ekyakulanga “Fuleemu”...