TOP

‘Abaana temubalekera basomesa na bannaddiini’

By Ponsiano Nsimbi

Added 7th October 2018

MINISITA omubeezi ow’ensonga z’abaana n’abavubuka Florence Nakiwala Kiyingi akubirizza abazadde obutalekera basomesa na bannaddiini kubagunjulira baana.

Koona 703x422

Minisita Nakiwala Kiyingi (owookubiri ku ddyo) ng’asimbula abaana abeetabye mu misinde.

Bino yabyogeredde ku Lutikko e Lubaga bwe yabadde asimbula emisinde egyetabiddwaamu abaana n’abantu abakulu mu kaweefube w’okunoonya ssente z’okuddaabirizza ekifo kya ‘’Holy Infant Oratario’’ ekimanyidwa nga Sunday school abaana abato we basomera eby’eddiini.

Ku mukolo guno Nakiwala kwe yasiimidde ne Ssaabasumba Dr. Cyprian Kizito Lwanga olw’ekirowoozo ky’okutandikawo ekifo ky’abaana kino kye yagambye nti kyakwongera okusika abaana ababadde balekebwa awaka olw’okubulwa we babakuumira.

Cansala w’essaza lya Kampala Rev. Fr. Joseph Mary Ssebunnya eyakiikiridde Ssaabasumba yategeezezza nti ekifo kino kyakwongera okubangula abaana mu by’eddiini n’asaba abazadde obutabaleka waka wabula bajjenga nabo buli Ssande basobole okuyiga ekigambo kya Katonda ekinaabayamba okutambulira mu kitangaala kubanga be bakulembeze ab’enkya.

Yagambye nti ekigenderwa ky’emisinde gino kuliko okusonda ssente z’okuddaabiriza ekifo ekyabaweereddwa ssaabasumba, okuyamba abaana okukuuma emibiri gyabwe nga miramu, okunnyikiza eddiini, okumanyagana n’okuzimba emikwano mu baana.

Yagambye nti waliwo enteekateeka z’okubunyisa enkola eno mu ssaza lyonna okulaba nti abaana bongera okumanya Katonda ne yeebaza minisita olw’obuyambi bwe yabawadde ng’omulimu guno gwetaagisa ensimbi ezisoba mu bukadde 10.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

She1 220x290

Abaafunye akabenje mu Ambulance...

Abaafunye akabenje mu Ambulance baziikiddwa

Rak1 220x290

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye...

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye n'afiirawo e Rakai

Gat2 220x290

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana...

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana akkiriza omusango n'asaba ekisonyiwo

Mut1 220x290

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate...

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate kya Maama Nnabagereka

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...